TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwendo gw'abaana abakabasanyizibwa gweyongedde mu muggalo!

Omuwendo gw'abaana abakabasanyizibwa gweyongedde mu muggalo!

Added 2nd April 2021

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

Martin Kiiza akulira ekibiina ekya National Children Authority ng'annyonnyola ku mbeera y'abaana mu kiseera ky'omuggalo

 

EKITONGOLE ekikola ku nsonga z'abaana ekya National Children Authority (NCA) kiwadde lipooti ku ngeri embeera ya Corona n'omuggalo gy'ekosezzaamu abaana, bangi basuuliddwawo abalala ne bafuna embuto.

Abaana ebitundu 57.4 ku 100 batulugunyiziddwa mu ngeri ez'enjawulo, abamu ne bammibwa eby'etaago by'obulamu kyokka lipooti eraga nti abaana abawala beebasinze okukosebwa.

Martin Kiiza akulira NCA yategeezezza nti lipooti eraga abaana ebitundu 62 ku 100 beenyigidde mu bikolwa eby'okukabasanya ng'abamu babiyingiddemu ng'erimu ku kkubo ly'okufunamu ensimbi basobole okuyimirizaawo obulamu.

Okuggala amasomero olw'obulwadde kiviiriddeko abaana bangi okuwanduka mu masomero abalala ne bayingirira obufumbo nga tebannaba kuweza myaka 18.

Abazadde abamu okufiirwa emirimu kibaviiriddeko okusindika abaana okukola emirimu gye batalina kukola ng'okutunda omwenge, okutembeera, okukola mu birombe bya zaaabu era bangi bafundikidde eby'okusoma babisuddewo.

EBYENJIGIRIZA BIKOSEDDWA:

Omuwandiisi ow'enkalakkalira mu minisitule y'ebyenjigiriza, Alex Kakooza yalagidde amasomero okuddamu okwetegereza bye baalina okusomesa balondemu eby'enkizo ennyo bye babeera bawa abayizi.

Yayanjudde enteekateeka empya nti abayizi bye basubiddwa okusoma mu bibiina ekimu bajja kubisomera mu kibiina ekiddako kubanga ensomesa ya Uganda ebeera yakwongerezaako kw'ebyo omuyizi by'asomye mu kibiiba ekisoose.

Omuyize okusoma kisoboka bulungi okukolebwa ku ssomero mu kibiina oba mu kifo ekirala kyonna ne bw'abeera waka.

Abasomesa ba Uganda balina obukugu obw'etaagisa okutaputa ebisomesebwa ne bamanyi kiki eky'etaagisa okuwa omuyizi era ne bakimusomesa mu kiseera ekituufu n'akifuna.

Okutuukiriza enteekateeka eno, minisitule esazeewo okukuba mu kyapa ebimu abayizi bye baalibadde basomera mu kibiina babibagabire nga bali eka beesomese ng'emu kun kola gye balina okuyitamu okujjuliriza bya balina okusoma.

Ebipya bye babawadde baakubisoma nga bakozesa obudde bwe bandibadde bakozesa okugenda mu mpaka z'ebyemizannyo wakati waamasomero oba disitulikiti ez'enjawulo kubanga byayimirizibwa.

ABAMASOMERO BANNYONNYOLA:

Ekiseera kino kibaddemu gavumenti okukyusa enkola ezimu ezirina okugobererwa mu masomero agamu ne gasalawo okulagira abayizi bonna okudda mu kisulo.

Mike Kironde owa Janan Schools era sentebe wa Proprietors of Private Educational Institutions Association in Ugand, yategeezezz nti okukaka omuyizi okuyingira ekisulo kibeera kikyamu kubanga abazadde abamu tebalina busobozi kusasula sente ezo.

Amasomero naddala agali mu kibuga galina ebifo bifunda ekijja okukalubya entegeka y'okwawula mu bava eka n'abasula ku ssomero.

Lipooti y'ekitongole kya Unicef eraga nti abaana akawumbi kamu n'ekitundu okwetoloola ensi yonna bakoseddwa ekirwadde kya Corona amasomero bwe gaggalibwa.

Amasomero mangi mu mawanga ag'enjawulo abayizi abamu bakyalinda gaggulibwewo badde mu ssomero nga ne Uganda kweri kubanga abayizi mu bibiina ebimu tebannaba kudda ku masomero.

Unicef ng'eyambako gavumenti z'amawanga agamuokuli ne Uganda, abayizi obukadde 60 basobodde okubafunira obusobozi okusoma nga bakozesa emikutu gya yintanenti.

AKULIRA EBY'ENJIGIRIZA E KAMULI:

Ibrahim Kanakulya akulira okulambula amasomero mu disitulikiti y'e Kamuli yagambye nti abayizi abataasobodde kudda ku masomero mu kitundu ky'atwala bali ebitundu 35 ku 100.

Agamba nti bangi ku bataasobodde kudda ku masomero bayingidde mu mirimu egy'enjawulo okuli okuvuba, okutema ebikajjo n'okulima.

Kino kyavudde ku bazadde obutwawaayo budde kubuulirira baana ate nga n'amasinzizo gye bandiddukidde okubalambika gaali maggale.

Obwavu obususse kibadde kimu ku biremesezza abayizi okukozesa emikutu egy'enjawulo okusoma kubanga abazadde bangi tebalina TV, radio oba okugulira abaana amawulire omubadde mufulumira ebisomesebwa.

ABAZADDE N'ABAYIZI BALOJJA:

Shalif Matovu omuyizi ku ssomero lya Rawuzha High Sch Mpigi agamba nti wadde ng' abayizi abamu babadde basomera ku ttiivi ne yintanenti tabiryabyeko okutuusa lwe babazzizzaayo ku ssomero.

Abdu Kalim Ssekalegga omuyizi mu S.3 ku ssomero lya Rawuzha High School Mpigi: okuva lwe yava ku ssomero nga 18th March, 2020 abadde taddangamu kuwuliziganya na musomesa yenna ng'asoma ku bifulumira mu mu Biugedde.

Joseph Ssempijja mutuuze we Buwama; Muwala wa muliranwa wange owa P.7 yafunidde olubuto mu muggalo era yazadde ku lunaku lwenyini lwebatandika ebigezo, eky'omukisa ebigezo yamaze n'abikola ne bbebi we.

Evalist Kalibbala mutuuze eMpigi; Nze nnali nkola 30,000/- olunaku nga kwempeerera abaana n'okubalabirira naye okuva webaateekawo kafiyu wa saawa emu nyinyuka n'omutwalo gumu olumu nobutagufuna era katono na baaana banneme okuzaayo ku ssomero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...