TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasumba bavumiridde ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu

Abasumba bavumiridde ebikolwa by'okutyoboola eddembe ly'obuntu

Added 2nd April 2021

ABASUMBA okuli ow’essaza ly’e Masaka n’Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu ebyefuze omwaka oguwedde na guno ng’abantu bangi bakyanyiga biwundu n’okutuusa kati. Bagumizza abayita mu kunyigirizibwa nti beyambe Amazuukira gongere okubasembeza ku Katonda waabwe.

Omusumba Serverus Jjumba.

Omusumba Serverus Jjumba.

Bya TONNY KALYANGO

ABASUMBA okuli ow'essaza ly'e Masaka n'Omulabirizi wa West Buganda bavuddeyo ne bavumirira ebikolwa eby'okutyoboola eddembe ly'obuntu ebyefuze omwaka oguwedde na guno ng'abantu bangi bakyanyiga biwundu n'okutuusa kati. Bagumizza abayita mu kunyigirizibwa nti beyambe Amazuukira gongere okubasembeza ku Katonda waabwe.

Omulabirizi Henry Katumba Tamale.

Bino bibadde mu bubaka bwabwe obw'Amazuukira bwe bawadde abakkiriza. Omusumba w'essaza ly'e Masaka, Serverus Jjumba asinzidde mu makaage e Kitovu n'ategeeza nti obulwadde bwa Ssennyiga omukambwe bukosezza nnyo abantu mu geri ez'enjawulo abantu bangi ne bafa okuli n'omusumba John Baptist Kaggwa kyokka ate n'abalala bangi abakoseddwa olw'ebikolwa ebityoboola eddembe ly'obuntu nga bikolebwa abo abalina obuyinza.

Yayongeddeko nti embeera eno yasinga kusajjulwa kulonda ng'ebiseera by'okunoonya akalulu byajjula effujjo era abantu bangi baafuna ebisago abalala ne bafiira mu busambattuko wakati waabwe n'abakuuma ddembe. Yasabye aboobuyinza okuteekawo embeera ewozesa abo abaakwatibwa mu bwenkanya.

Bp. Jjumba yajjukizza Abakristu b'essaza lino ku kkatala ly'okutegeka okulamaga kw'e Namugongo  nga June 3 eryabaddiziddwa n'abasaba bonna okusitukiramu. Yayozaayozezza abakulembeze bonna abalondeddwa n'abakubiriza okufuba okulwanirira emirembe n'obwenkanya mu buweereza bwabwe.

Omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba ye obubaka bwe yabwesigamizza ku kugumya famire zaabo abazze batusibwako ebizibu ebitali bimu omuli abafiira mu kiseera ky'okunoonya akalulu, ababuzibwawo n'abo abazze basuulibwa naye nga balina ebisago eby'amaanyi ebitabasobozesa kuddamu kwekolera nga n'abalala tebaddangamu kulabikako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...