TOP

ENSONGA 10 EZIGOBYE NDIRANGWA E KIBULI

Added 2nd April 2021

Supreme Mufuti, Sheikh  Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde ensonga 10 ezigobye Ndirangwa e Kibuli.

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

Kamulegeya (ku kkono) n'omugenzi Kayongo.

Supreme Mufuti, Sheikh Ndirangwa yalekulidde nga kigambibwa nti e Kibuli waliyo obutakkaanya mu bukulu. Tukuleetedde ensonga 10 ezigobye Ndirangwa e Kibuli.

EMMOTOKA ZA MUSEVENI

Sheikh Obed Kamulegeya(naye yatabuka n'ab'e Kibuli) yatunuza Pulezidenti mu buzibu bwa Bamaseeka n'abakulembeze b'Obusiraamu obutaba na mmo­toka. Mufti Ramathan Mubajje naye yabuulira Museveni ensonga y'emu. Pulezidenti ne yeeyama okubagulira emmotoka.

Omulangira Nakibinge ne Ndirangwa.

Emmotoka za Museveni zaatuuse omwaka oguwedde e Kampalamukadde n'e Kibuli. Kyokka ez'e Kibuli, kigambibwa nti Nakibinge yazigaanyi oku­gendayo ne bazitwala ku Hotel Africana.

Bukya mmotoka zijja era ab'e Kampalamukadde ne batandika okuzikozesa ab'e Kibuli babadde bakoonagana ku ngabana yaazo kubanga tezibamala. Abamu nga bagamba nti zitwalibwe ba-Dis­trict Khadi abatalina mmotoka. Abalala zikozesebwe abakulira ebitongole e Kibuli. Kyokka ate ng'emmotoka ezimu ziriko aman­nya g'abalina okuzitwala.

Kigambibwa nti Omulangira Nakibinge ekimu ku byamun­yiiza ye Ndirangwa ne banne okukolagana ne State House ku by'emmotoka nga tebamugam­bye. Kigambibwa nti Omulangira yalagidde ziweebwe ba-District Khadi era ensonga n'azirekera Ndirangwa.

Kyokka bwe baatuuse okussa mu nkola nga bali ku Africana ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, ab'e Kibuli basatu ne balemerako babawe emmotoka kubanga za­jjidde mu mannya gaabwe. Bano kuliko Hajji Badru Sagala akulira bannakyewa, Hajji Muhammad Kigozi Ssetyabule Ssaabawan­diisi w'e Kibuli ne Sheikh Yusuf Sonko. Emmotoka ya Ndirangwa nayo yajjidde mu mannya ge kyo­kka ye yagondedde ekiragiro kya Nakibinge obutatwala mmotoka. Eggulo emmotoka yabadde ekyali ku Africana.

Mu kiseera we baagabidde em­motoka ate Omulangira yabadde Kibuli ng'asisinkanye ababaka ba Palamenti Abasiraamu.

Engabanya y'emmotoka nayo yayongedde okubatabula bwe kyavuddeyo nti Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh Mu­hamood Kibaate tafunanga kummotoka, akozesa ntambula yiye. ate ne ku luno ekiragiro kya nakibinge kyamuggyemu.

abaafunye emmotoka kuliko hajji musa kajubi ow'e bu­tambala. ono waliwo abaamu­wakanyizza nti si district khadi ate wa luganda ku hajji sagala akulira bannakyewa. Sheikh sulait sentongo naye yafunye. ono mumyuka wa district khadi w'e masaka. ono eriyo abaamuwakanyizza kubanga si district khadi.

OKUSUZAAWO ABASIRAAMU

Okusomooza ndirangwa kw'afunye be basiraamu abatu­tumufu abaatandikiriza okuva ku nkola y'okuziikirawo. dr. annas kaliisa bwe yafa nga november 3, 2020 yasula ennaku bbiri. Hajji Nasser Sebaggala yamala wiiki nnamba nga teban­namuziika. hajji katongole eyafudde mu kiro ekyakesezza olwokubiri, mu busiraamu yan­dibadde aziikibwa kw'olwo kyo­kka yasuziddwaawo n'aziikibwa lwakusatu!

kigambibwa nti kino kitemye mu kibuli ng'abakulu abamu baagala kuziikirawo abalala nga tebakirinaako mutawaana oku­suza abafu. ndirangwa awagira kuziikirawo kyokka abanene abalina amaanyi e kibuli balina engeri gye bakyusizza ebintu, mu ngeri ndirangwa gy'alowooza nti enafuya kibuli naddala bwe bat­walibwa ne babasaalira e kibuli.


ENSONGA ZA MUZAATA

Ndirangwa yafuna obutakkaanya ne banne ku ngeri y'enkwata y'ebintu bya muzaata. ndirangwa alowooza nti muzaata abadde munene e kibuli nga tewali ngeri gye bayinza kwesamba nsonga ze ne ziswaza obusiraamu. kyokka omulangira yasalawo "okutta ku bigere" okwewala kibuli okubeera mu kavuyo.

kyokka mu kusaalira katon­gole, omulangira yakyogeddeko ng'akubiriza abasiraamu oku­laama ate babeeko bye bassaako essira okuli okulaga abakazi be balese ne be baayawukana nabo kyanguyize abasigaddewo oku­gonjoola ensonga.

EKISANJA KYA NDIRANGWA KYAGGWAKO

Ndirangwa okulya ekya su­preme mufti waaliwo amannya amalala agaaleetebwa okwali erya dr. annas kaliisa agambibwa nti yawagirwa omulangira.

kyokka sheikh obed kamulegeya n'aleeta lya ndirang­wa ne lisembebwa bamaseeka. kam­ulegeya ng'agamba nti ndirangwa teyalina bamulwanyisa ng'ajja kuyamba okugatta obusiraamu.

kyasembebwa ndirangwa akole emyaka ebiri bad­demu balonde. okuva olwo tebalondanga. era buli lwe wabad­dewo ekisobye nga bajjukiza nti lwaki ndirangwa tavaako kubanga ekisanja kye kyaggwaako dda!

ABADDE TALINA "GGAASI"

ndirangwa yadda mu bigere bya kayongo eyali ow'ettutumu olw'engeri gye yavangayo n'amaanyi ku nsonga zonna naddala okutunda oba okukwata obubi ebintu by'obusiraamu n'okunyigiriza abantu.

ndirangwa abadde tavaayo nnyo ng'asooka kwete­gereza ate olwo ne babiwa muzaata y'aba abyogera. ekya ndirangwa okuleka abatwala ofiisi ez'enjawulo boogere ye n'asirika abamu bakiraba ng'obunafu era bakimuteekako nti assizza wansi ekitiibwa n'ettutumu lya ofiisi ya supreme mufti.

 

OKUFA KWA MUZAATA

muzaata yali wakati wa ndi­rangwa ne nakibinge nga muk­wano gwabwe bombi. bukya al­wala n'afa, wabaddewo obuzibu kubanga omulangira yeesiga abantu bato1no ate ng'amaze kulwa nabo. bwe wabaawo obutakkaanya abaasigala e kibuli waabuzeewo agamba omulangira ebifa mu nkambi ya ndirangwa n'abikkiriza. era wabadde tewakyali atwala ndo­wooza ya mulangira mu nkambi ya ndirangwa.

 

NDIRANGWA YEESOOSE OMULANGIRA

obubonero e kibuli bulaga nga ndirangwa abadde asulirira kugobwa. wabad­dewo ebyogerwa mu bamaseeka abatuula ku lukiiko lw'abamanyi olwa majilis ulamah nti beteeketeeke okuyitibwa okulonda supreme mufti.

n'olwekyo ndirang­wa bwe yabooleddwa mu kusaalira katongole n'amanya ng'ennaku ze e kibuli ziwed­deko. kwe kwesooka ababadde bategeka okumugoba ye n'alekulira.

 

TALINA MUGONGO

ndirangwa bamune­nya nti buli nsonga agitwala wa mulan­gira amusalirewo omuli n'ebintu ebitwalibwa ng'ebitono ebyandimaliddwa amangu ofiisi ya supreme mufti. atya okubaako ensonga gy'asalawo ku lulwe. byonna abirinza nkiiko olumu ne kirwisa ebyetaaga okusalwawo amangu.

 

ENKAAYANA Z'ABASIRAAMU

gavumenti yassaawo akakiiko okunoonyereza ku nkaayana z'abasiraamu nga kakulirwa eyali minisita tarsis kabwegyere. akakiiko kaafulumya lipoota era nakibinge n'awabula obutaddayo kubaako bye basaba gavumenti okutuusa ng'ebiri mu lipoota bis­siddwa mu nkola.

nakibinge mwennyamivu nti lipoota teyakolwako ate abantu be ne bagenda mu maaso n'okwewuuba mu state house nga basaba ebintu birala ng'emmotoka. bwe bafuna bye basaba ne bibikka ebikulu ebyan­diyambye obusiraamu.

Enfa y'abanene e kibuli

kibuli efiiriddwa abantu bangi okuva ku bamaseeka abattibwa. okufa kw'abantu bano kwavaako ebyogerwa bingi nti waliwo olukwe okutta abasiraamu, okunafuya kibuli (abasinga okufa b'e kibuli). waliwo abalowooza nti ofiisi ya ndirangwa yandibad­deko ky'eyogera ku bantu bano okuyamba abasiraamu okumanya ekituufu naddala ku kibuli w'eyimiridde. bakimuteekako nti "ndirangwa asirika nnyo".

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...