TOP

Poliisi ekutte bana ababba abantu mu kibuga

Added 2nd April 2021

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo n’okubba abantu n’ebaggalira oluvannyuma lw’okubasanga nga baliko be balondoola n’ekigendererwa eky’okubabba nga abamu bakayimbulwa okuva mu kkomera .

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Omuserikale atwala Kakooza okulinnya Kabangali.

Bya Eria Luyimbazi 

POLIISI ya CPS mu Kampala ekutte abavubuka abeenyigira mu kusala ensawo  n'okubba abantu n'ebaggalira oluvannyuma lw'okubasanga nga baliko be balondoola  n'ekigendererwa eky'okubabba nga abamu bakayimbulwa okuva mu kkomera.

Omuserikale ng'atwala Ssemujju.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yagambye nti  okukwata abavubuka bano kyaddiridde poliisi ya CPS okusindika abaserikale baayo okulawuna enguudo mu Kampala okusobola okutangira abateega abantu ne bababba naddala abagenda okugula ebintu bya Pasika n'okugenda mu kyalo .

"Abantu bali mu keetalo ka Paasika wabula waliwo bannaffe abalina ebigendererwa eby'okubalemesa naddala mu Kampala wakati nga babasala ensawo n'okubabba  era abaserikale okuva ku poliisi ya CPS baliko be bakutte ne baggalirwa nga bano babbi baalulango." Owoyesigyire bwe yategeezezza.

Ssande eyakwatiddwa.

Yagambye nti abakwatiddwa kuliko: Everest Ssande, Elious Kakoozi ne Godfrey Ssemunju nga bano bakwatiddwa abaserikale ku poliisi ya Mini Price ku Lwokuna ate ye James Muhumuza nakwatibwa poliisi y'e Nakivubo.

Wabula omu ku baakwatiddwa Kakooza yalaajanidde abaserikale okumusonyiwa ng'agamba nti yabadde y'akayimbulwa okuva mu kkomera e Kitalya nga bagenda kumuzzaayo   kyokka bwe baamubuzizza kyabadde akola mu kifo we baamukwatidde n'asirika.

Abakwatiddwa bagguddwako omusango oguli ku fayiro nnamba SD 65/31/03/2021. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...