TOP

Philip, bba wa Kwiini wa Bungereza afudde!

Added 9th April 2021

OMULANGIRA Philip, bba wa Kwiini wa Bungereza afudde!

Kwiini ne bba Philip (kati omugenzi)

Kwiini ne bba Philip (kati omugenzi)

OMULANGIRA Philip, bba wa Kwiini wa Bungereza afudde!

Philip (99) abadde yasiibulwa wiiki ssatu emabega okuva mu ddwaaliro gy'abadde ajjanjabibwa obugonvu.

Obwakabaka bwa Bungereza tebinnavaayo mu lwatu kwasanguza kisse mulangira Philip.

Obufumbo bwe ne Kwiini 

KKWIINI Elizabeth yagattibwa n'Omulangira Philip nga November 20, 1947 mu Kkanisa ya Westminster Abbey.

Obufumbo bwe, bwe bukyasinze okuba obw'ebyafaayo (mu buwangaazi) mu lulyo olulangira e Bungereza. Leero Bukedde akunokoleddeyo ebintu munaana okuva Kkwiini lwe yasisinkana Philip mu 1934 okuli n'ebimunyize.

"Oyo lwe lujegere lwange era y'ampa amaanyi okubeerawo emyaka gyonna", bino bye byali ebigambo bya Kkwiini bye yayogera ku bba nga bajaguza okuweza emyaka 50 mu bufumbo mu 1997. Obufumbo bwe ne n'Omulangira Philip kati buweza emyaka 74 nga bwe bukyasinze okuwangaala mu byafaayo bya Bakabaka b'e Bungereza ne bumenya likodi ya Kabaka George III ne Kkwiini Charlotte nga baamala emyaka 57.

Kyokka omukwano gwabwe tegubadde ku kaseerezi okuviira ddala mu ntandikwa kubanga Omulangira Philip okuva e Greece okuganza Omumbejja w'e Bungereza olusozi gambalagala olwali lubalindiridde.

1.BATANDIKA OKUKUKUTA
Elizabeth ne Philip baasookaokulabagana maaso ku maaso ng'Omumbejja (Elizabeth) ng'alina emyaka munaana gyokka ku mbaga y'Omumbejja Marina ow'e Greece ne Denmark (kizibwe wa Philip) ng'agattibwa n'Omulangira George, Duke w'e Kent (taata omuto owa Elizabeth) mu 1934.

Nga wayise emyaka etaano nga Elizabeth awezezza emyaka 13, ate Philip nga wa 18, baddamu okusisinkana mu ssomero lya Royal Naval College e Dartmouth.

Eno amasannyalaze gye gaabasikira Elizabeth n'atandika okukukuta n'omuvubuka eyali agenda okubeera bba obulamu bwe bwonna nga baatandika na kwewandiikira bubaluwa.
Mu 1946, Philip yasaba Kabaka George VI amukkirize Omumbejja Elizabeth lubeere olubiriizi lwe.

Awatali kulonzalonza Kabaka yamukkiriza kyokka ng'amuwadde akakwakkulizo kamu akikuume nga kyama nnyo okutuusa nga Elizabeth awezezza emyaka 21 mu April w'omwaka oguddako (1947). Kino kyali bwe kiti kubanga Kabaka George VI ne Kkwiini Elizabeth baali balina ekirowoozo nti, Omumbejja akyali muto nnyo okugenda mu bufumbo.

Mu biseera ebyo nga Bungereza yaakava mu Ssematalo Owookubiri (1939-1945) waaliwo okutya ku ngeri Philip eyazaalibwa mu Greece nga yeeyita mu Danish alina akalandira e Girimaani bw'agenda okufuuka bba w'Omumbejja alindiridde Nnamulondo e Bungereza! Kyokka ne Phillip yabatebuka ne yeeyambula ebitiibwa by'engoma byonna e Greece ne Denmark n'asaba obutuuze e Bungereza n'erinnya n'afuna erya Mountbatten nga lyamuweebwa bajjajjaabe abazaala maama we.

Ate bwe baali bajaguza okuweza emyaka esatu mu bufumbo, Kabaka George n'amuwa ebitiibwa ekya Duke of Edinburgh, Earl of Merioneth and Baron Greenwich n'okutuusa leero kyokka ng'asinga kukozesa kya Duke of Edinburgh.

BATANDIKA OBUFUMBO

Elizabeth ne Philip baagattibwamu Kkanisa ya Westminster Abbey nga November 20, 1947. Embaga tebulako musiiwuufu ne ku ya bano omuge gwa Elizabeth gwakutuka ku makya g'embaga ate ne Philip poliisi yamukwata n'emutangira okuyita mu kibuga Londona nga (November 19) ng'agenda okwegezaamu ku binaabeerawo enkeera. Ekyamugaanyisa kwe kuvuga mmotoka endiima wadde yeewozaako nti, yali agenda kusisinka Ssaabalabirizi we Canterbury.

Nga bali ku kyenkya ky'embaga, Kabaka George VI yategeeza nti, omukwano gwabwe agulaba nga temuli bukuusa. "Muwala waffe agenda kuwasa omusajja amuli ku mutima," bwe yayongerako. Ne Katikkiro Winston Churchill yatendereza laavu ya bano nti, "kino kimyanso mu nzikiza gye tulina okuyitamu", -ng'ategeeza olutalo lwe baalibaakavaamu.

BAVA E BUNGEREZA

Nga bamaze okufuuka omwami n'omukyala, Elizabeth ne bba baagula amaka kazinga Malta (1949-51), olw'okuba Omulangira Philip yali asindikiddwaayo okuweereza mu ggye lwa Kkwiini ery'empingu. Akazinga kano akali mu liyanja Mediterranean gwe mulundi gwokka Elizabeth bwe yabeera mu bulamu bwennyini obw'omukyala w'omujaasi.

Era ng'okumusuulako ‘sapulayizi' okujjukira emyaka 60 mu bufumbo, mu 2007, Omulangira Philip yazzaayo Kkwiini ku kazinga kano n'oluvannyuma ne badda e Broadlands ekifo ekisangibwa e Hampshire mu nnyumba mwe baamala ekiro ekisooka nga bafumbiddwa.

BATANDIKA AMAKA

November 14, 1948, Elizabethne Philip baafuuka abazadde bwe baafuna omwana waabwe asooka Charles - ono ye Mulangira alindiridde Nnamulondo akutte likodi mu byafaayo bya Bungereza. Ono baamuzzaako abaana abalala basatu Anne nga August 15, 1950, Andrew nga February 19, 1960, n'omuggalanda Edward nga March 10, 1964.

Okuzaala abaana bano abana n'oluvannyuma Elizabeth n'atuula ku Nnamulondo, 1952, baatandika okukubaganya ebirowoozo ku linnya ffamire eno ly'erina okuyitibwa. Wabula oluvannyuma lw'emyaka esatu bakkaanya ffamire eno esigale ng'eyitibwa ‘Windsor' (soma winsa).

Mu biseera ng'ab'olulyo olulangira bakubaganya ku linnya lino, okusinziira ku Sally Bedell Smith alondoola olulyo Olulangira, yategeeza nti, ekyali kiruma Omulangira Philip - yategeeza nti, "Sirina mugaso nninga nzirugaze. Nze musajja yekka mu ggwanga lino atakkirizibwa kutuuma linnya lyange ku baana abange'. Era olw'okwemulugunya kuno, etteeka lyayisibwa nga February 8, 1960 nti, abaana n'abazzukulu ba Elizabeth ne Philip abalenzi balina okwongera Mountbatten - Windsor ng'erinnya ku mannya gaabwe.

5.ATUULA KU NNAMULONDO
Mu 1952 nga bali mu kuwummulako mu Sagana Lodge mu Kenya, amawulire g'okukisa omukono okwa Kabaka George VI gaabatuukako. Omulangira Philip ye yalina okubikira mukaziwe Elizabeth eyali aweza emyaka 25 gyokka!

Elizabeth yatuuzibwa ku Nnamulondo nga June 2, 1953. Omulangira Philip ye yasooka okulayira nga bw'agenda okugondera era okuba omuwulize eri Kkwiini. Gyles Brandreth omuwandiisi wa Philip, yamubuuza ku buwulize buno n'engeri gye yawulira n'addamu nti, "Simanyi ... omwami atalina bwogerero... ndowooza."

OKUSOMOOZEBWA

Mu 1992, gwali mwaka Kkwiini gwe yayita ‘annus horribilis - ‘horrible year' ekitegeeza omwaka ogutaali mwangu kugumiikiriza. Abaana baabwe basatu ku bana be balina bonna baali bakubaganye empeta ze beenaanika.

Ffamire ye yali teva mu mawulire ate nga bawandiika bibi byonna okuli n'eggulire ly'Omulangira Charles okwenda ku mukazi Camilla Parker Bowles (oluvannyuma eyafuuka mukazi we ate n'Omumbejja Diana (eyali mukazi wa Charles) okwenda ku Muwarabu Dodi - era baafa bombi mu kabenje k'emmotoka.

Mu mwaka gwe gumu olubiri lw'e Windsor emu ku nnyumba ya Kkwiini yakwata omuliro ne gwonoona ebintu bingi.

Omumbejja Diana bwe yafiira mu kabenje mu 1997, nga waakayita omwaka gumu nga baawukanye ne Charles Abangereza baalumba olulyo Olulangira nti bamanyi ku nfa ye.

Kati mu kusoberwa n'okulaga nti ne Kkwiini yanyolwa olw'okufa kwa Diana, Kkwiini yagenda ku ttivvi n'ayogera ku Diana nti, "abadde wa njawulo era ow'ebitone ebirungi bingi. Namwagala era nga mmuwa ekitiibwa. Amaanyi ge abadde agassa mu kulaba ng'abalala babeera bulungi n'okusingira ddala abaana be abalenzi ababiri." Kyokka era kino tekyamala abantu baagenda mu maaso n'okumunyigiriza nti, ago akaaba maziga ga ggoonya.

Abafumbo Elizabeth ne Philip bayise mu kuviibwako abantu abalala ab'enkizo nga Namasole mu 2002 ne muganda wa Namasole Omumbejja Margaret mu mwaka gwe gumu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...