TOP
  • Home
  • Amawulire
  • KCCA ekutte abatundira ku nguudo n'okubowa emmaali

KCCA ekutte abatundira ku nguudo n'okubowa emmaali

Added 9th April 2021

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu ku mmaali yaabwe  nga babalanga okubakolako effujjo. 

Kino kiddiridde abatundira ebintu ku nguudo naddala ku Ssebaana Road ku mwala gwa Nakivubo okuliraana ekizimbe kya Ham okukasukira abaserikale ba KCCA amayinja n'obutembe  bwe baabadde babagoba ku nguudo mu nteekateeka eyatuumibwa ‘Kampala  a smart City' . 

Abaserikale ba KCCA abaakulembeddwamu Hakim Lubega nga bali ne poliisi ku Lwokutaano bakedde ne balumba abatundira ku mwala gwa  Nakivubo naddala akatundu we baabakubidde amayinja ne bakwatako abamu n'okubowa emmaali yaabwe ne bagitikka ku kabangali ne babatwala okusobola okubeesasuza. 

Kwata (20)

Abamu ku basuubuzi  olwalengedde abaserikale ba KCCA baddusizza emmaali yaabwe ne bagikweka mu mwala gwa Nakivubo wabula abaserikale ba KCCA basseeyo ne bagikwata ne bagitwala. 

 Aba baagezezzaako okubalwanyisa kyokka ne babasinza amaanyi ne babateeka ku mpingu ne babalinnyisa kabangali ne babatwala.  

Kwata (18)

Abamu ku baserikale ababadde mu kikwekweeto kino bagambye nti ensangi zino abaserikale bwe bagenda mu bikwekweto okukwasisa  amateeka n'okugoba abatundira ebintu ku nguudo waliwo ababakuba nga kino kyabaddewo ku Lwokuna ekibaviiriddeko okukola ekikwekweto mwe baakwatidde 12. 

Emabegako ng'abaserikale bayisa ebizindaalo mu Kibuga nga balagira abatembeeyi bonna okugenda mu butale kyokka ne balemerako.

Kwata (17)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...