TOP

Looya wa Ssempala yeekandazze n'afuluma kkooti

Added 9th April 2021

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa okuwaayo okwewozaako kw’omuntu we okwamulagirwa.

Olwaleero kkooti ebadde ezze okuwulira omusango omubaka Nabilah gwe yawaaba ng'ayagala kkooti eyise ekiragiro ekyenkomeredde ekigoba bba Ssempala awaka kubanga ateeka obulamu bwe mu buzibu.

Derrick Lutalo akiikiridde Nabilah ategeezezza kkooti nti batwalira ba looya ba Ssempala empapula z'ensonga zaabwe ssaako ekiragiro ekigoba Ssempala awaka kyokka looya Christopher Ochom n'akubira Ssempala essimu era Ssempala n'amugaana okuzikwatako.

Done1

Lutalo ategeezezza omulamuzi Patience Lorna Tukundane owa kkooti y'eddaala erisooka e Makindye nti amateeka g'akkiriza kkooti okusala omusango wadde ng'oluuyi olumu teruwaddeyo kwewozaako kwalwo ne basaba omusango guwulirwe era gusalwe.

Ronald Kayizi akiikiridde Ssempala ategeezezza kkooti nti tebaweebwangako mpapula era tebalina kye bamanyi kyokka omulamuzi n'amubuuza engeri gyategeddemu okujja mu kkooti olwo n'alemwa okuddamu.

Done2

Omulamuzi ategezezza Kayizi nti mu kiseera kino nga tewali kye baleese mu kkooti talina ky'ayinza kumatiza kkooti , Kayizi ne yeekandagga ne muganda wa Ssempala , Muhamad Ssebagala ne bafuluma kkooti nga bagamba nti tebayinza kukkiriza nkola bweti.

Kyokka kino tekigaanye mulamuzi kugenda maaso n'okuwulira ensonga za Nabilah era n'awa olwa April 15, 2021 okusala omusango.

Ekiragiro ekikugira Ssempala okugenda mu maka gaabwe e Katuso - Buziga mu Makindye kyongezeddwayo okutuusa kw'olwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...