TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze batabukidde omuserikale eyagula ettaka n'aziba ekkubo e Ssembabule

Abatuuze batabukidde omuserikale eyagula ettaka n'aziba ekkubo e Ssembabule

Added 17th April 2021

Abatuuze ku byalo bina okuli; Kigando, Kirumba, Sozi ne Bukaana mu ggombolola y'e Mijwala e Sembabule bali mu kutya olw'omuserikale Captain Aron Abaho okugula ettaka ku kitundu kyabwe ate n'aziba ekkubo eritwala abatuuze ku luzzi, amasomero n'eddwaliro nga tebalina waakuyita. 

BYA MARIA NAKYEYUNE

Mu lukiiko oluyitiddwa obukubirire omubaka wa Pulezidenti, Ramadhan Walugembe, abatuuze balumiriza omuserikale ono okuggala ekkubo lyabwe saako abaserikale be okubatiisatiisa n'okuwamba abantu abagezaako okuyita mu kkubo lino.

Good1

Bano bawanise ebipande nga balaajanira abakulira amagye, Poliisi ne RDC okuvaayo okubayamba kuba maanyi gasusse ku ttaka lino.

Walugembe agguddewo ekkubo lino lwa mpaka n'atabukira abaziba amakubo g'abatuuze nti kikyamu era n'ayita bukubirire bassentebe b'ebyalo abagambibwa okumwekweka ng'abatuuze babalumiriza okuleetawo emivuyo ku ttaka.

Captain Aron Abaho yeeganye eby'okutiisatiisa abatuuze ku ky'ekkubo n'agamba nti yaliziba oluvannyuma lw'abatuuze okuyitawo ne baleka ente ze ne zifuluma kyokka ne zirya ebirime byabwe ate n'aliwa ky'agambye nti wateekwa okubaawo okukkaanya.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...