TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mabirizi addukidde mu kkooti Enkulu ku musango gw'avunaana Ssaabalamuzi Dollo

Mabirizi addukidde mu kkooti Enkulu ku musango gw'avunaana Ssaabalamuzi Dollo

Added 17th April 2021

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi addukidde mu kkooti enkulu mu musango gw'avunaana Ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo n'agisaba esazeemu ebiragiro ebyaweereddwa Omulamuzi Asuman Muhumuza .

Mabirizi mu bbaluwa gy'awandiikidde kkooti enkulu, agamba nti Muhumuza yeekobaana n'omuwaabi wa gavumenti ne yeddiza omusango ne bakukuta nga bakola buli kimu nga tebamutegeezezza nga ye eyaloopa omusango.

Agamba nti byonna bye baakola bikontana n'akawaayiro 17 mu tteeka erirambika ekitongole ekiramuzi era bikontana n'akawaayiro 48 ne 50 mu tteeka erirambika emisango gy'ebibonerezo.

Omusango gwe yeemulugunyaako guli ku namba 290/2021 mw'avunaanira Ssabalamuzi Dollo okweyisa mu ngeri etasaana n'atuuka okulumba fayiro ya mulamuzi munne Esther Kisaakye.

Ekiseera kyekimu Mabiriizi awandiikidde Omuwandiisi w'akakiiko akafuga Abalamuzi n'asaba nti nga bakozesa obuyinza obuweebwa mu mateeka bagobe Omulamuzi Muhumuza ku mulimu gw'Obulamuzi.

Agamba nti yamuggalira ebweru mu musango ye gwe yatwala mu kkooti n'amuggyako omukisa gw'okuwulirwa mu bwenkanya. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...