TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba NRM e Wakiso baagala Museveni alung'amye ku nnonda ya Sipiika

Aba NRM e Wakiso baagala Museveni alung'amye ku nnonda ya Sipiika

Added 20th April 2021

ABA NRM mu Wakiso basabye Pulezidenti Museveni alung’amye ababaka nga balonda Sipiika wa Palamenti. Baagambye nti ababiri ababaddewo okuli Rebecca Kadaga ne Jacob Oulanyah bonna babaggyewo ku lw’obulungi bwa palamenti okuba awamu.

 

Bawabudde nti ababiri bonna bafuuse ba ttutumu abayinza okuvaako ekibiina okwabulukuka ssinga balonda omu omulala ne bamuleka. Ate anaalondebwa asobola okuvaako ekizibu mu maaso ne yeeyagaliza entebe ya Pulezidenti w'eggwanga.

Eggulo Ssentebe wa NRM atwala ggombolola ya Masuliita, Ssaalongo Muwada Namwanja yategeezezza nti mu palamenti eddako basaba bakole etteeka nga Pulezidenti w'eggwanga alondeddwa yaateekwa okwerondera Sipiika nga bwe kiri ku ssentebe wa NRM we yeerondera Ssaabawandiisi.

Muwada yasiimye Gavumenti ya Mmengo n'ekitongole kya NAADS ekyamuwa emmwaanyi nti kati zikuze era yatandika dda okuyoola ssente.

Yalaze yiika z'emmwaanyi munaana nga zonna zibaze n'ategeeza nti kati ebyobufuzi biweddewo asaba buli omu addeyo ku mirimu ne mu nnimiro abantu bakole.

Muwada azze awa endowooza ye ku bintu ebyenjawulo. Yayambalira abakulembeze b'eddiini okuba ne kyekubiira mu by'obufuzi ate n'alumba ne Kadaga ku togikwatako olwobutayamba kibiina kyabwe kukakkanya mbeera eyagwawo mu palamenti ate n'atabukira Gavumenti ku luguudo lwabwe olw'e Masuliita olutakolebwa ate nga Gavumenti gyeyasinga okulwanira

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...