TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Spice Diana atangaazizza ku nkolagana ye ne Diamond Platnumz

Spice Diana atangaazizza ku nkolagana ye ne Diamond Platnumz

Added 22nd April 2021

‘NAMALA ne Diamond essaawa ntono nnyo mu butuufu nga ssatu zokka. Namusisinkana mu maka ge ne twogera bingi kyokka nga byonna byali mu layini ya bizinensi. Abagamba nti tweganza mu by’omukwano baswadde kubanga si bwendi.

Yatukyaza n'abantu bange mu makage n'atuwa ekyeggulo era we twayogerera n'ebya bbizinensi ne twawukana ne nzira ku mirimu emirala egyali gitututte.

Waliwo n'abalowooza nti namusaba kkolabo wabula nakyo saakikola. Twayogera ebikulu ku ngeri gy'akola bbizinensi okumuyigirako.

Bwendifuna omusajja wange ndibategeeza naye kye muba mumanya essaawa eno ebyo si byendiko.

Wiiki ennamba gye mmaze e Tanzania, mbadde ku mirimu egimmalawo era nga wadde gibadde gikwatagana ne Diamond omuli okwogerera ku leediyo ye eya Wasafi FM, ebigendererwa bya alubaamu gye tulina okukola, mbadde siyinza kuva ku mulamwa kudda mu ebyo.'

Spice Diana ng'amannya amatuufu ye Hajara Diana Namukwaya, abadde Tanzania gy'amaze wiiki n'ekibinja ky'abantu munaana okuli maneja we, Roger Lubega ne Team Spice erimu bakanyama ne bawolole abalala.

Ttikiti z'ennyonyi zonna Diamond ye yazisasula ng'ayagala Spice abeere omu ku bayimbi abali mu alubaamu y'abayimbi be mu kkampuni ye eya WCB Wasafi Record Label.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...