TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ''Mukebere abalwadde endwadde ezibaluma nga tezinnaba kusajjuka'

''Mukebere abalwadde endwadde ezibaluma nga tezinnaba kusajjuka'

Added 30th April 2021

AKULIRA eddwaaliro ly’e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w’omu byenda essira baliteeke mu kukebera abantu bategeere abalina endwadde nga tezinnaba kusajjuka okusinga okubalongoosa okuwonya.

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

Omusawo ng'agezesa bwe balongoosa.

Bya Benjamin Ssebaggala 

AKULIRA eddwaaliro ly'e Mulago, Dr. Byarugaba asabye abasawo abalongoosa endwadde nga kkansa w'omu byenda essira baliteeke mu kukebera abantu bategeere abalina endwadde nga tezinnaba kusajjuka okusinga okubalongoosa okuwonya.

Dr. Byarugaba ng'akwasa omu ku baabadde mu musomo satifikeeti.

Dr. Baterena abadde aggalawo omusomo gw'abasawo abajjanjaba endwadde ezikwata mu lubuto ogubadde ku ddwaaliro ekkulu e Mulago okumala wiiki nnamba. Pulezidenti w'ekibiina ekigatta abasawo bano Dr. Vivian Akello ategeezezza nti mu musomo guno mwe baategekedde olusiisira lw'ebyobulamu okujjanjaba abamu ku balina endwadde zino kyokka abalwadde babadde bangi nga tebasobola kubamalawo mu wiiki emu abalala ne babajuliza ku nnaku endala.

Ategeezezza nti olunaku olwasooka lwokka baafuna abalwadde 450 nga ne bwe bakola kw'abo bonna tebasobola kubamalawo. Dr. Peter Mbidde agambye nti abalwadde be baakozeeko waliwo abamu ababadde balina ebizimba by'omu lubuto, abamu babazuddemu kkansa ng'atandika ne babalongoosa ne bamuggyamu.

Dr. Akello agambye nti okusinziira ku kye bazudde, enteekateeka efaananako bweti baakwongera okugitambuza ebitundu by'eggwanga eby'enjawulo kubanga abantu bangi abalina endwadde bwe zityo kyokka abakugu abazijjanjaba batono n'ebifo ebirina empeereza bwetyo mu ggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...