TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssentebe wa LC II e Luwero yasoose kulabula babbi nga tebannamwokera mu nnyumba ne famire ye

Ssentebe wa LC II e Luwero yasoose kulabula babbi nga tebannamwokera mu nnyumba ne famire ye

Added 4th May 2021

SSENTEBE wa LC II e Luweero yasoose kulaalika babbi ababbye pikipiki ye n'abawa ennaku 10 bagizze we baabadde bagiggye ekyaddiridde kwabadde kumwokera mu nnyumba ne ffamire ye.
Edward Ssekandi 49, abadde ssentebe w'omuluka gw'e Kibanyi mu ggombolola y'e Bamunanika mu disitulikiti y'e Luweero, abatemu abatanategerekeka baakozesezza petulooli ne bamwokera mu nnyumba ye ne ffamire ye.
Ennyumba yabaddemu abantu 12 okwabadde ne balamu be abaabadde bamukyalidde okubaako ebizibu byebagonjoola ebyabadde awaka. Bana ku baabadde mu nnyumba baabaggyemu nga balamu ate munaana baayidde era babiri ne bafirawo mbulaga.
Abaafudde ne Ssekandi kuliko; mukoddomi we Amos Wante, Eseza Naigaga, Irene Nangobi ne Kevin Ssenteza 13 ate Hellen Nakyejwe 4, yayidde omukono, Beatrice Ndibairawa muka Ssekandi ne mwannyina Nathan Ndaye bakyali mu mbeera mbi mu ddwaliro e Kasana.
Nga tannafa, Ssekandi yasoose kulaalika ababba pikipiki ye, yagambye abatuuze nti, ababbi yabadde abategedde kyokka engeri gye baabadde baana ba ku kyalo, yatuukiridde bazadde baabwe n'abagamba nti, ‘abaana bamwe babbye pikipiki yange naye ssaagala nkole kintu mugambe nti nkoze bubi.
naku ntono abaabadde bateeberezebwa okubba baalwadde ne babeera bubi era bateebereza nti, abo be beesasuzza.
Robert Kiguli abadde amyuka Pikipiki ye UEJ 282J Ssekandi yagambye nti, waliwo abagivuzeemu naye bajja kugizza n'agamba nti, abawadde ennaku 10 nga bagikomezzaawo.
Kiguli annyonnyola nti, enaku 10 zaweddeko n'ayongeramu endala ssatu nga pikipiki ye tebagikomyawo olwo kwe kutegeeza nti, ‘abaatutte pikipiki yange mbanoonya namwe munoonya, anasanga munne yajja okumuwa ky'ayagala.
Wabula Benjamin Ssekate kkansala w'e Ziroobwe yagambye nti, ye yasambye okwogera ne Ssekandi n'amutegeeza nti, ttaka lye lyamusizza. Yagambye nti, Ssekandi abadde alwanyisa nnyo ekibba ttaka

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...