TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abakozi ba Rock bavudde mu mbeera ne bekalakaasa

Abakozi ba Rock bavudde mu mbeera ne bekalakaasa

Added 4th May 2021

Bya Phoebe Nabagereka
Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga obutali bumativu olw'okumala ebbanga lya myezi ena nga tebasasulwa nsimbi ate nga kwotadde bakama baabwe okubalimba nga nti bakusasulwa ne batazibawa.
Abakozi abawerera dala 800 baagala basasulibwe ensimbi ez'emyezi ena gye babanja oba sikyo bakubeera Ku kampuni okutuusa nga ababakulembera bavudeyo ne babannyonnyola.
OC w'egerenge Kyabita agambye abakozi balina okukkakkana ayogere n'ababakulembera okutuusa olunaku olw'okusatu lwe banaabasasula ensimbi zaabwe wabula kino abakozi bakiganye ne bagamba siyayogerera kampuni nga bagala kusasulibwa olwaleero.
Mayor wa Katabi Town Council Ronald Kalema atuuse okukkakkanya abakozi n'abategeeza nga bwayogedeko n'abakulu era ne basuubiza olunaku lw'okutaano okusasula abakozi bonna.
Kampuni eno yayimiriza abakozi bonna okukola awatali nsonga jebabawadde nga tebabasasudde namusaala gwabwe ekiviriddeko okwekalakaasa.
Bbo ababakulembera besibidde munda mu kampuni ne bagaana okuvaayo okwogera n'abakozi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...