Bano baakulembeddwa ssentebe w’eggombolola eno, Kibira Aloysius eyategeezezza nti bulungibwansi akoleddwa eggombolola yonna wabula bo ng’abakulembeze beekwatiddemu bayooyoote ekkubo lino.

Ekiwu ssaabasajja mw'atuula ekizimbibwa
Yayozaayozezza Beene okutuuka ku matikkira aga 28 n’amwebaza amakula g’akoledde Obuganda omuli okutumbula ebyobulimi, ebyobulamu n’ebirala.
Yagambye nti abtuuze ku kitundu basaaliddwa kubanga tebagenda kwetaba ku mikolo gino olw’ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe wabula n’asaba gavumenti okuvaayo egemese abantu sikulwa ng’ate baddamu okusubwa amatikkira g’omulundi oguddako.

Ab'ekibiina Kya Buganda Nkerettanyi ekizimba Embiri Z'omutanda
Oluguudo luno lwasimbibwako emmwanyi ku mabbali g’ekkubo ekiraga onti Obuganda buli ku ntikko mu kulwanyisa empologoma y’obwavu.
Ye omubugilizi wa ssaabasajja Namirembe Teopisita alaze okusoomoozebwa naddala ku miti emito egitagenda kulaba mattikira gano.
Ekiri mu Lubiri e Nkoni kika! Ekibiina kya Buganda Nkerettanyi ekivunaanyizibwa ku kuzimba embiri za Kabaka kyabadde kitambuza bukwakku emirimu gy’okizimba ‘Ekiwu’ ssaabasajja mw’atuula ku mattikira ge nga kino kizimbibwa emiti enkoma, ensagazi awamu n’okuserekesebwako essubi.

Abakulembeze nga bakola bulungibwansi w'okweteekateekera amattikira
Omwogezi w’ekibiina kino, Kalibbala Alideki yasabye abantu okutuula mu maka gaabwe gye baba balabira n’okuwulira emikolo gy’amattikira nga bayita ku mikutu gya leediyo ne ttivvi zonna. Amatikkira ag’omulundi guno gaakuberawo nga July 31, 2021.
