Amawulire

Ab'e Buddu bakoze bulungibwansi mu kweteekerateekera amatikkira ga Ssaabasajja

ABAKULEMBEZE mu ggombolola y’e Kkingo mu disitulikiti y’e Lwengo baakoze bulungibwansi ku luguudo lwa Nkoni Hill omutanda mw’ayita ng’akola dduyiro sikulwa nga wabaawo ekinnya oba akasubi ebiyinza okumutega ng’adduka.

Abakulembeze nga bakola bulungibwansi
By: Florence Tumupende, Journalists @New Vision

Bano baakulembeddwa ssentebe w’eggombolola eno, Kibira Aloysius eyategeezezza nti bulungibwansi akoleddwa eggombolola yonna wabula bo ng’abakulembeze beekwatiddemu bayooyoote ekkubo lino.

Ekiwu ssaabasajja mw'atuula ekizimbibwa

Ekiwu ssaabasajja mw'atuula ekizimbibwa

Yayozaayozezza Beene okutuuka ku matikkira aga 28 n’amwebaza amakula g’akoledde Obuganda omuli okutumbula ebyobulimi, ebyobulamu n’ebirala.

Yagambye nti abtuuze ku kitundu basaaliddwa kubanga tebagenda kwetaba ku mikolo gino olw’ekirwadde kya Ssenyiga omukambwe wabula n’asaba gavumenti okuvaayo egemese abantu sikulwa ng’ate baddamu okusubwa amatikkira g’omulundi oguddako.

Ab'ekibiina Kya Buganda Nkerettanyi ekizimba Embiri Z'omutanda

Ab'ekibiina Kya Buganda Nkerettanyi ekizimba Embiri Z'omutanda

Oluguudo luno lwasimbibwako emmwanyi ku mabbali g’ekkubo ekiraga onti Obuganda buli ku ntikko mu kulwanyisa empologoma y’obwavu.

Ye omubugilizi wa ssaabasajja  Namirembe Teopisita alaze okusoomoozebwa naddala ku miti emito egitagenda kulaba mattikira gano.

Ekiri mu Lubiri e Nkoni kika! Ekibiina kya Buganda Nkerettanyi ekivunaanyizibwa ku kuzimba embiri za Kabaka kyabadde kitambuza bukwakku emirimu gy’okizimba ‘Ekiwu’ ssaabasajja mw’atuula ku mattikira ge nga kino kizimbibwa emiti enkoma, ensagazi awamu n’okuserekesebwako essubi.

Abakulembeze nga bakola bulungibwansi w'okweteekateekera amattikira

Abakulembeze nga bakola bulungibwansi w'okweteekateekera amattikira

Omwogezi w’ekibiina kino, Kalibbala Alideki  yasabye  abantu okutuula mu maka gaabwe gye baba balabira n’okuwulira emikolo gy’amattikira nga bayita ku mikutu gya leediyo ne ttivvi zonna. Amatikkira ag’omulundi guno gaakuberawo nga July 31, 2021.

Tags:
Matikkira
Lwengo
Kabaka