Nnyaabwe Nnaalongo Nanyonga agamba nti, ‘nazuula nga bwe babeerako n’olugendo nga mbagambye nti balina okulya emmere ne bagimalawo tulyoke tugende, Babirye alya mangu emmere eyiye n'agimalawo.

Nannyonga n'abalongo nga bawere

Nannyonga n'abalongo be, Babirye (ku kkono) ne Kato
Babirye nakizuula luvannyuma nti abasomesa bwe babawa eby’okukola awaka Babiye akola mangu ebibye mu kitabo n’abimaliriza oluvannyuma n'akola n'ebya Kato n'abimala ebitabo ne babitereka. Nakyo nakizuula ne tumugaana okumukolera kubanga kyali kizza Kato emabega.

Abalongo bwe benkana kati
Wabula Kato tayinza kwebaka nga tatuuseko mu kisenge kya Babirye kumusiibula nti asule bulungi . Ne bw'omuwalaawala agende yeebake akomawo n'asiibula ku mulongo munne asule bulungi . Wabula Nnaalongo agamba nti gye bakoma okwagalana ate gye bakoma okulwanagana.