Engeri bba wa Paasita Manjeeri gye yanobamu awaka
Oct 13, 2021
Kigambibwa nti omusajja okuva awaka kyaddirira obukuubagano obwava ku mukazi okukizuula nti bba Katongole yazaala abaana ebweru w’obufumbo.

NewVision Reporter
@NewVision
Manjeri alumiriza bba nti yazaala abaana basatu mu bakyala basatu ab’enjawulo wakati wa 2012 ne 2017 era abaana bali wakati w’emyaka 5 ne 8. Kino nti kyali kivuddeko n’obutabanguko mu maka naddala okuyomba olutatadde ekyawaliriza omusajja okuviira Paasita Manjeri.
Kigambibwa nti Manjeri yali ayongedde n’okunyweza eby’okwerinda bye nga kigambibwa nti yalina okutya nti n’abantu ab’emitima emibi basobola okumutuusaako obulabe nga bakozesa akakuubagano akaaliwo wakati we ne bba.
Mu bubaka Manjeri bwe yaweerezza abakadde b’Ekkanisa ku mukutu gwa WhatsApp ku bigenda mu maaso, yabategeezezza nti, yeekubira enduulu mu mikwano gye mu gavumenti abaamuwa amagezi okufuna obukuumi era nga mu kiseera kino bw’abeera mu ggwanga, atambula n’abakuumi olw’okutya kw’alimu.
Mu bubaka yagasseeko nti ayita mu mbeera enzibu ennyo era okwebaka amala kumira makerenda ageebasa otulo, olw’ebirowoozo ebingi by’alimu.
Manjeri agamba nti babadde bakyasabira kya maka kutereera ate n’afuna amawulire nti bba ategeka kuwasa mukazi mulala ku ntandikwa y’omwaka ogujja era nti kino kye kyamuwalirizza okutegeeza abakadde b’Ekkanisa baleme kwekanga nga balaba bba amusuddewo, agenze na mupya.
Kyokka bino mikwano gya Katongole bagamba nti tebiriiko bukakafu era bawakanya n’ebyo Manjeri by’alumiriza Katongole nti yazaala abaana basatu mu bakazi basatu ab’enjawulo.
Katongole mu kwogerako ne Bukedde ng’asinziira Alabama yagambye nti luno lutalo era tayinza kululwanira bweru wa ggwanga, n’agamba nti waakudda mangu mu Uganda atangaaze ku buli nsonga gye bamulumiriza.
Maxresdefault
ABASUMBA BABITUDDEMU NE BIREMA
Joyce Wokuri, omukadde w’Ekkanisa ya Bethel Healing Centre yagambye nti embeera gye bayitamu ng’Ekkanisa tebasanyusa naddala buli lwe balaba nga Paasita waabwe anyigirizibwa.
Joyce yagambye nti bbo ng’Ekkanisa bayimiridde mu kusaba oluvannyuma lw’enteeseganya z’okutabaganya abafumbo okulema, kyokka balina okukkiriza nti ebiremye abaana b’abantu, Katonda abiyinza.
Yalambuludde nti: Nnayogedde ne Paasita Manjeri ne muwa amagezi tuleme kulwana na mubiri.
Tuli mu kwegayira era tumanyi nti Mukama agenda kutwanukula kuba Paasita Manjeri mukazi mukkiriza nnyo.
Yayongeddeko nti Manjeri amaze ebbanga ng’abagamba nti waliwo abantu abamulondoola okumutuusaako obulabe era ng’atambulira mu kutya.
Yagambye nti ng’Ekkanisa bakimanyi nti Manjeri akoze buli ekisoboka okuyimirira ne bba era nti ajjukira bazadde ba Katongole bwe baafa, nga mu kiseera ekyo Katongole yasangibwa ali mu Amerika era teyasobola kukomawo, kyokka byonna Manjeri yabiyimiriramu era n’abaziika mu kitiibwa.
Joyce yagambye nti yakiwulirako nti omukazi Paasita Katongole gw’ayagala okuwasa Muzungu era nti baalabaganira mu Amerika.
Ensonda zaategeezezza nti waliwo Bapaasita ab’amaanyi 4 Manjeri be yatwalira ensonga zino nti kyokka kaweefube w’okumutabaganya ne bba, tannavaamu bibala.
No Comment