Omuvubuka avumbiikiriza omwana wa nnabakyala w’e Kinawataka n’amusobyako n’amutta
Oct 14, 2021
OMUVUBUKA avumbiikiriza muzzukulu wa nnabakyala w'e Kinawataka Nnaalongo Safinah Nakintu n'amusobyako n'amutta oluvannyuma omulambo n'agusuula mu mwala.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Edward Luyimbaazi
OMUVUBUKA avumbiikiriza muzzukulu wa nnabakyala w'e Kinawataka Nnaalongo Safinah Nakintu n'amusobyako n'amutta oluvannyuma omulambo n'agusuula mu mwala.
Latifan Namawejje 10, kigambibwa nti yattiddwa omuvubuka Gerald Ssematiko ng’ono abadde muliraanwa waabwe, omusaayi n'agulembeka mu kikopo oluvannyuma omulambo gwe n'aguteeka mu kkutiya n'agusuula mu mwala gw'e Kinawataka mu Katoogo.
Nakintu agamba bwe bukedde ku makya abatuuze baamuyise ne bamutegeeza nga bwe waliwo omulambo gw’omuntu ogwabadde gusuuliddwa mu mwala era naye n'asalawo okuyita abamu ku batuuze b'e Banda beyawuliddeko nga banoonya omwana waabwe eyabadde abuze.
Nnaalongo Safina Nakintu, Muzzukulu We Eyattiddwa E Kinawataka.
Omulambo gw’omwana ono gwabadde gulabikako kugulu kwokka era Nakintu y'omu ku bayambyeko okumuggyayo ng’ali wamu ne mmeeya w'e Nakawa Paul Mugambe wabula bwe baguggyeyo mu kiveera okuguteeka ku kabangali ya poliisi agenze okulaba nga ye muzzukulu we Namawejje era ne gutwalibwa mu ggwanika ly'e ddwaaliro ly'e Mulago.
Omumyuka w’omwogezi wa Poliisi Kampala n'emiriraano, Luke Owoyesigyire yakakkasiza ettemu lino n'agamba nti bali mu kunoonyereza .
Agasseeko nti Ssematiko yadduse era bali mu mu ku munoonya okulaba ng' akwatibwa wabula bwe baakedde mu nnyumba ye basobodde okugyayo akatimba k'ensiri ne bulangiti wamu n’ebikopo nga biriko omusaayi era nga bino babitutte ng' ebizibiti.
No Comment