Bya Edward Luyimbaazi
AMAKA ga Pulezidenti gayingidde mu nkaayana z’ettaka ly’e Luzira zooni 6, abatuuze abasoba mu 1000 ababadde ku bunkenke olwa bannannyini ttaka okuva mu ffamire y’omugenzi Mohammed Jaber ababadde baagala okubasengula ku bibanja byabwe.
Amaka ga Pulezident okuyingira mu nsonga zino, abatuuze mu zooni eno nga bakulembeddwa Yuniya Nankinga , Betty Nakazzi ne Juma Zena n’abalala kiddiridde okwekubiraa enduulu nga beemulugunya ku baana b’omugenzi Mohammed Jaber abaagala okubasengula mu bibanja byabwe kwe bamaze emyaka egisoba mu 60.
Edward Sunday Ochieng omumyuka w’omuwandiisi mu offiisi ya maka ga Pulezidenti ku nsonga z’e ttaka yayise olukiiko olukiiko okusobola okutawulula enkayana zino o era nalabula bannanyini ttaka bano obutageza kusengula batuuze bano singa babeera tebalina kiragiro kya kkooti .
Abaana ba Jaber okuli; Mohamood Mohammed Jaber, Ahmed Mohammed Jaber ne Maki Jaber abamu ku batuuze be balumiriza okwagala okubasengula mu lukiiko luno tebaabaddewo.
Wabula Zena Jaber nga naye mu bbaluwa gye bawandiikidde Ochieng bamulumiriza okwagala okubasengula, yawakanyizza eby’okwagala okugoba abantu ku ttaka kubanga baabasangawo era tebatuulangako mu lukiiko okugabana ebintu bya kitaabwe.
Omubaka wa Nakawa East Ronald Balimwezo ne Mmeeya w’e Nakawa Paul Mugambe basiimye okujja kwa Ochieng okuwuliriza ensonga z'abantu so si muntu era bw’atyo n’asaba n'abantu abagagga obutanyigiriza bantu.