Bano nga bakulembeddwamu Linneti kirungi okuva mu Hope Care Rescue Mission basabye etteeka lino lyawulibwe ku biragala ebirala nga ebigimusa, ttiyaggaasi n'ebirala kuba ku ebyo tekuli kireeta buvune bwa lubeerera nga asidi.

Kirungi ng'alaga abamu ku bantu abaayokebwa asidi
Bano bategeezezza nti, abakyala abookeddwa asidi ebiseera ebisinga kiva ku baagalwa baabwe kugaana okukikkiriza nti enkolagana yaabwe bombiriri eweddewo era olw'okwagala okwesasuza, nga ayokya mune asidi nga ebiseera ebisinga abantu bano baagala nnyo okwokya obwenyi okusobola okuttira gwe bookezza akatale.
Bategeezezza nti bo abaana abato oluusi bagwa mu bizibu ebitali byabw; omuntu ayokya omwana olw'obuzibu bw’alina ku bazadde be abalumye.

Ntolinwe mu kiteeteeyi ne Kirungi mu sikaati enzirugavu nga balaga enkonvu za asidi
Kirungi agamba nti waliwo etteeka eryabagibwa erya 2016 toxic chemicals bill wabula nga lisaana okukyusibwamu okusobola okufuna obwenkanya wakati wa gwe bayokya asidi n'oyo eyayokya.
Kirungi yategeezezza nti omuntu ayokya munne asidi talina nnyo njawulo na mutemu era nga omuntu oyo yandisibiddwa mayisa so si myaka 8 nga bwe kirambikibwa mu tteeka ng'ate gwe yaleetako obuvune asigaza enkovu z'ebitundu ezo okumala obulamu bwe bwonn.
Lina Ntolinwe ye asabye gavumenti okwongera ku nsimbi z'eteeka mu malwaliro gaayo okugasobozesa okuba n'ebifo ewafunirwa obujjanjabi obusookerwako ssinga omuntu aba afunye obuzibu obwo kubanga mu Uganda yonna eddwaliro ly'e Kiruddu lye lyokka erigaba obujjanjabi obwo ekintu ekiteeka obulamu bw'abantu mu katyabaga naddala abo abali ku mabbali g'ekibuga.
Ntolinwe asabye gavumenti okussaawo etteeka erikugira abantu okuba n'obusobozi okufuna asidi nga n'oyo aba amutunda alina okuba ne layisinsi okusobola okumutunda wabula nga ne gw’aguza asidi oyo alina okuba n'ekiwandiiko ekimukkiriza okumugula.