Bya Edith Namayanja
Abachina abaaweebwa omulimu gw’okugaziya ekisaawe ky’ennyonyi e Ntebe oguli mu bukadde bwa doola 200 amaaso gabamyuse bwe balemeddwa okunnyonnyola akakiiko ka palamenti aka COSASE engeri gye baafuna kontulakiti eno.
Bano okuva mu kkampuni eyitbwa CCCC (China Communications Construction Company) nga bakulembeddwaamu agikulira mu Uganda, Li Jin Cheny basisinkanye abakaka ku kakiiko kano akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti, okunnyonnyola emirimu gwe baaweebwa, emitendera gye baayitamu okufuna kontulakiti, we bagutuusiza.
Olumaze okweyanjula, basabiddwa okuddamu ebibadde bibabuuziddwa wabula bano nga papalapanya era nga balaga nti tebategeera babaka bye babuuza.
Ababaka abatuula ku kakiiko kano okubadde; Nkunyingi Muwada owa Kyadoddo East, Richard Sebamala owa Bukoto Central, Lucy Akello amyuka ssentebe w’akakiiko kw’ossa ne Roland Ndyomugenyi owa Rukiga County bavudde mu mbeera ne babatabukira olw’okuba nti babadde tebasobola na kubabuulira linnya lya kkampuni yaabwe mu bujjuvu ate nga bakugira looya waabwe Shafir Hakeem Yiga okubaako ky’annyonnya.
Omubaka Muwada yeezoobye ne pulojeti maneja waabwe, Li Quph okumugyamu 'ansa' wabula ono atuuse n’okumugamba nti tategeera lulimi lwayogera na biki byamubuuza.
Oluvannyuma ono abategezeeza nga bwe batalina lukusa lwonna kuwaayo biwandiiko kubanga bakolera wansi w’amateeka nga ne bakama baabwe tebali kuno bali China.
Kino wabula tekirobedde ssentebe w’akakiiko kusalawo kwe era n'abatuma okuleeta empapula zino wiiki ejja ku Mmande yadde nga babadde bategeezezza nga bwe balina okudda e China beetabe mu bikujjuko by’obuwangwa ebitandika nga 15 omwezi guno.