Essomero lya Kasangati Moslem Pulayimale School nga liri ku musingi gwa Gavumenti lijuniddwa omuzirakisa Hajji Baker Kazibwe bw'awaddeyo deesike abayizi bawone okutuula ku ttaka nga basoma.
Deesike Kazibwe yazitisse Kansala Abdalah Akim Waziri, akiikirira ekitundu omusangibwa essomero lino naye eyazikwasiza akulira essomero Mariam Nantale eyeebazizza n'asaba nti obwetaavu bukyaliwo olw'omuwendo gw'abayizi okweyongera.
Abayizi Mu Kibiina Nga Batudde Wansi2
Abayizi Mu Kibiina Nga Batudde Wansi.