MINISITA w'ebyobulamu, Dr Jane Ruth Aceng, ategeezezza Palamenti nti omuwendo gw'abantu abafa omusujja gw'ensiri gweyongedde mu bitundu bya Uganda.
Aceng okwogera bino asinzidde mu lutuula lwa Palamenti olutudde ku Lwokusatu nga July 6, 2022 nga lukubirizibwa Sipiika Anita Among mwategeerezza nti ebitundu Malaria gy'asinze okwegiriisizza mulimu Karamoja, Acholi, Lango, Bukedea ne Busoga.

Sarah Opend omubaka omukyala wa Disitulikiti ye Tororo ng'annyonnyola ku bbula ly'omusaayi mu kitundu ky'akiikirira
Dr Aceng okwogera bino abadde ayanukula alipooti y'akakiiko k'ebyobulamu ku mbeera y'obuweereza mu bitundu omuli: Busoga, Elgon, Bukedi, Ankole ne Buganda: Ebimu ku kakiiko ke byazudde mwe muli okukendeera kw'eddagala lya Malaria, Acenge ky'agambye nti kyavudde ku kweyongera kwa balwadde, nga wano ababaka bawadde amagezi Gavumenti eteeke ssente mu bannassaayansi nga Polofeesa Patrick Ogwang (eyakola Covidex), okutandika okukola eddagala lya malaria.Dr Charles Ayume, akulira akakiiko kano ategeezezza nti baasanga ebyuma ebyafa naye nga tebikanikibwanga, era ne bakizuula nti ebikozesebwa tebitegekebwa bulungi.''Ku ddwaliro lya Tororo Hospital, ekyuma kya X-ray ekikyali ekipya kimaze emyaka ebiri nga tekikola nga kyakubwa amasannyalaze ageeyongeza nga bwe gakendeera mu kitundu.'' Lipooti bwe yasomye.