Abantu ab'enjawulo bawadde obubaka nga Msgr Katende ajaguza emyaka 70 egy'obukulu
Jul 13, 2022
OMULANGIRA Kassimu Nakibinge atenderezza ab’eddiini y’ekikatuliki okumanya amakulu agali mu kukuuma ebifo byabwe omuli ettaka lya Klezia, amalwaaliro n’amasomero gaabwe ne bawukana ku balala abagujubanira okwetunddako buli kimu. “Wewuunya omuntu okugujubana ne yetunddako buli kimu kyalabye gyoli nti tagenda kubaayo bagenda ku muddira mu bigere ng’ate nabo bye batunda babisangawo” Bwatyo Omulangira Nakibinge bweyategezezza.

NewVision Reporter
@NewVision
OMULANGIRA Kassimu Nakibinge atenderezza ab’eddiini y’ekikatuliki okumanya amakulu agali mu kukuuma ebifo byabwe omuli ettaka lya Klezia, amalwaaliro n’amasomero gaabwe ne bawukana ku balala abagujubanira okwetunddako buli kimu. “Wewuunya omuntu okugujubana ne yetunddako buli kimu kyalabye gyoli nti tagenda kubaayo bagenda ku muddira mu bigere ng’ate nabo bye batunda babisangawo” Bwatyo Omulangira Nakibinge bweyategezezza.
Ssentebe w'abagagga kwagala Godfrey Kirumira ng'akwasa Wynad Katende ekirabo
Bino Nakibinge yabyogeredde ku mukolo gwa kabaga k’amazaalibwa ga Msgr Wynand Katende kweyabadde omugenyi omukulu bweyabadde ajaguza okuweza emyaka 70, egy’obukulu ng’ate mu busoosodooti atambuza mwaka gwa 42.
Nakibinge yagambye nti mu kiseera kino eggwanga lyaffe lyetaaga abantu abakulu abe nsonga nga Msgr Katende abato n’abakulembeze be balina okwebuuzaako wabula kya nsonyi okubanga nti abasinga mu bifo abalina okuwabula ate bafukka bangiwadde omuliro ng’omukulembeze ne bwasobya tebamuwabula.
Wabula Nakibinge yatendereza Msgr Katende okubeera nga y’omu kwabo abakyalina ensa.
Abvantu abazze okujaguza akabaga k'amazaalibwa
Omukolo guno gwabadde mu kibangirizi ky’ekifo Msgr Katende kyeyatandikawo e Namugongo gye bayita e Kyoto awabeera ensiriika za bakatuliki. Nga kwetabiddwako bannaddiini abamaanyi okuli Bp Mathias Ssekamanya, Bp James Williams Ssebaggala, Msgr Kalumba, Msgr Kasibante, Msgr Ssemusu n’abalala.
Mu bantu abanene abalala kwabaddeko eyali Ssabalamuzi Bart Katureebe, Katikkiro eyawummula John Baptist Walusimbi, omugagga Godfrey Kirumira ne mukyala we Suzan Kirumira abakulembedde ba Kwagalana okuli Yusufu Matovu Youma, Dr. Sarah Nkonge, Topisita Nabaale n’abalala.
Kirumira yagambye nti Msgr Katende katonda yabamuwa nga kirabo kubanga tayawula munaku na mugagga kubanga abantu abali wano bakulaga nti muntu wabuli muntu agatta ne ddiini zombi ky’ova olaba nga Omulangira Nakibinge jjajja w’obusiraamu yabadde omugenyi omukulu.
“Ffe nga aba Kwagalana Msgr Katende tumutwala ng’omusumba waffe kubanga tatulekerera mu bulungi ne mu bubi era wadde tubeera naye buli lunaku twewunyiza okubeera nti yawezezza emyaka 70 ng’ate alabiika nga wa myaka 45” Bwatyo Kirumira bweyategezezza.
Jjajja w'obusiraamu Kasimu Nakibonge Kakungulu naye yabaddewo nnyo
Nze ne wuunya katonda engeri gyakukozesezza mu lugendo lwo luno olw'obulamu kubanga obadde wa njawulo . kubanga kino ekintu kyewatandiikawo eky’okusikkiriza abantu okufuna ebibanja mu kifo kino ffamire mwezisimba amayinja ag’omuwendo kwabalijjukirirwa emyaka gyonna ne bwe babeera bafudde.
Ye Bp James Ssebaggala ow’e Mukono yagambye nti Msgr Katende musumba wanjawulo kubanga agatta buli ddiini era nze n'ewaka gyazaalibwa bwe ngendaayo olowooza nti wennakuliira kubanga bandaga ne kisenge kye nsobola okusulamu e Mpata - Mukono bwembeera ngenze okulambula ebitundu ebyo bye ntwala.
Bart Katureebe yagambye nti Msgr Katende yatandika okumulamba nga kyasomera ku Klezia ya Christ The King mu Kampala era n'amwagala nnyo n'atuuka n’okumuwa omukisa okubeera omu ku basoma essomo e Nnagalabi nga Kabaka atikkirwa ekintu kye yasooka okutya.
Ye Msgr Katende yebazizza katonda okumwagala n’okumufula omuntu asobodde okukunganya abantu abamaanyi bwebati ng’ate musajja azaalibwa ku nnyanja Mukono e Mpata ekintu ekitali kyangu.
“Nze okumanya nayagalwa nnyo katonda ne maama wange anzaala banyumiza nti twasimattuka okulibwa envubu nze naye bwe nnali nkyali mu lubuto lwe bweyali ku nnyanja ne mmukanga naagwa ku mwalo ng’eyagala okumulya kyokka n'asimatuuka era nazaala nga ndi mulamu bulungi” Bwatyo Katende bwatendereza.
Omugagga Kirumira ne Mukyala we n'abantu abalala ku kabaga ka Wynad Katende
Yagambye nti wadde bakulira mu bwavu obuzibu ne baganda be ku mwalo ng’era bawugira mu nnyanja naye katonda yabayamba teri yalibwa kisolo kya mu mazzi yonna wadde okufuniramu obuzibu.
Msgr Katende yasabye mikwano gye okukkiriza nti bwanabeera abayise omulundi omulala bagende bamukwatireko okuzimba ekifo gaggadde ku Kyoto e Namugongo abalamazi we bagenda okusula nga abanabeera bavudde ewala nga bazze okulamaga.
Bishop Sekamanya ne Wynad Katende nga bayimba mmisa ku kabaga k'amazaalibwa
Yagambye nti asuubira okuggulawo ekifo kino mu myaka ettaano lwanajaguza okuweza emyaka 75, katonda bwanabeera akyamuewadde obulamu
Eyali ssaabalamuzi wa Gavumenti Bart Katurebe ng'abuuza nga ku Wynad Katende
No Comment