Bya Edward Luyimbaazi
EBY'OKUGOBA omusango gw’obutujju n’okutondawo ekiibiina ky'abatujju egyaggulwa ku banansi ba Rwanda bijjulidde oluvannyuma lw’oludda oluwaabi okutegeeza nga bwe bali abeetegefu okuleeta obujulizi obukwata ku misango gino batandike okugiwulira.
Okusinziira ku bannamateeka baabwe okuli; Geofrey Turyamusiima ne Innocent Okongo baakwatibwa mu mwaka gwa 2017 n ebavunaanibwa emisango okuli obutujju, okutondawo ekibiina ky’obutujju wamu n’okujingirira ebiwandiiko .
Mugisha, Mukisa, Tuyisenge Byakatonda , Maniriho ne Ndayisenga baleeteddwa mu kkooti y’omulamuzi Elizabeth Kabanda nga basuubira nti bagenda kuyimbulwa era emisango gino gigobebwe wabula tekisobose kubanga oludda oluwaabi nga lukulembeddwa Thomas Jatiko basabye kkooti okubawa obudde basobole okuleeta obujulizi obukwata ku misango gino kubanga babulina.