'Munyiikire okugaba omusaayi kuba teri kkampuni egukola'

Aba Rotary Club of Gayaza batandise kaweefube w’okugenda nga basomesa Bannayuganda naddala mu Kasangati Town Council Wakiso District ebirungi ebiri mu kugaba omusaayi.

'Munyiikire okugaba omusaayi kuba teri kkampuni egukola'
By Samuel Tebuseeke
Journalists @New Vision

Bano nga bakulembeddwamu Rotarian Dan Kiguli Dan Kibuuka kawefube ono bamutandikidde ku kyalo Mawule - Nangabo era olumaze okusomesa abantu ne bagaba omusaayi.

Kiguli yagambye tewali kkampuni mu nsi yona ekola omusaayi n'agamba nti omusaayi gukolebwa mibiri gyabantu na bwekityo abantu basaanidde okwongera okujjumbira ennyo enteekateeka z'okugaba omusaayi.

Nga Bawa Abantu Obujjanjabi

Nga Bawa Abantu Obujjanjabi

Obwedda basomesa abantu nga bwe babawa obujjanjabi ku bwerere, era ezimu ku ndwadde ze bajjanjabye mwe muli; amaaso nga abatalaba bulungi baabawadde ne ggalubindi ku bwereere, bajjanjabye amannyo, n'obujjanjabi obusookerwako wamu n’okukebera abantu puleesa.

Rotarian Nakiyingi Toe Wamu Na Ba Gayaza Rotary  Club Nga Betegereza Omwana Gwebasanze N'obulwadde Bwa Mambuluga Era Beyamye Okujjanjaba Omwana Ono Mpaka Bwanawona (2)

Rotarian Nakiyingi Toe Wamu Na Ba Gayaza Rotary Club Nga Betegereza Omwana Gwebasanze N'obulwadde Bwa Mambuluga Era Beyamye Okujjanjaba Omwana Ono Mpaka Bwanawona (2)

Rotarian Toe Nakiyingi eyakulembeddemu abasawo okujjanjaba ku ddwaliro lya TENAP Medical Centre awaakubiddwa olusiisira lw'ebyobulamu luno yategeezezza nti endwadde nnyingi ze bazudde mu baana abato naddala obulwadde bw'amambulugga obubadde buludde okulabika mu baana ng'obuzibu buvudde kubeera nga abantu balwawo nnyo okugenda okwekebeza okumannya obulamu bwabwe bwe buyimiridde.