Abalonzi 22,120, 458 be basuubirwa okulonda mu konsityuwensi 290. Ng'ebifo ebirondebwamu biri 46,229 mu kulonda kuno okukyusinzeemu abavuganya abangi okuva Kenya bwe yafuna obwetwaze.
Ku mulundi guno, abeesimbyewo ku Bwapulezidenti bali bana nga be bakyasinze okuba abatono okuva Kenya lwe yadda mu nkola ey'ebibiina ebingi mu 1992, kyokka ng'abantu 2,132 be beesimbyewo ku bifo by'ababaka ba Palamenti 290 ate abeesimbyewo abalala 12,994 baagala kukiikirira ebifo by'amasaza 1,450.

Abamu ku beesimbyewo okuvuganya ku ntebe y'Obwapulezidenti
Abantu 340 be beesimbyewo ku bifo 47 eby'obwaseneti ate 266 baagala bwagavana obw'amasaza 47, nga n'abalala 359 baagala kya babaka abakazi abakiikirira amasaza 47 agali mu nsi eno.
Abeesimbyewo ku Bwapulezidenti abana kuliko: Raila Odinga, William Ruto, David Mwaure Waihiga ne George Wajackoyah naye nga vvaawompitewo asinga kuba wakati wa Ruto ne Odinga.