POLIISI ekutte abawandiika ku mutimbagano (bloggers) abaategeezezza nti ekizimbe kya Ham Towers kyabulabe eri abantu abakikolerako.
Ababiri abaakwatiddwa ye Javira Ssebwami ne Remmy Asiteza babaggalidde ku poliisi ya Kira Division ku fayiro SD REF 53/29/8/2022.
Bano baatadde obubaka ku mutimbagano nga bategeeza nti ekizimbe kya bulabe era ne bayita ebitongole okuli National Building Review Board (NBRB) ne KCCA okuddamu okukyetegereza
Wabula Isaac Newton omwogezi wa Ham Enterprises (U) Ltd yategeezezza poliisi bino byebaawandiise si bituufu by'akoleddwa n'ekigenderewa ky'okuttatta na erinnya ly'omugagga Ham. Isaac yasabye abantu bano okuggyayo bye baawandiisi nti byabulimba ne basaba okubawa obukadde buna (4,000,000/-) balyoke babiggyeyo.
Newton yatutte ensonga ku poliisi n’egenda naye webaalagaanye okusisinkana era olwabadde okubasasula ne babakwata.
Nga batuuse ku poliisi bakkirizza nti baawandiise obubaka obusasamaza kyokka ne basaba babasonyiwe. Ekiseera kino bakyakuumirwa ku poliisi e Kira.
Ekizimbe eky’ogerwako ekya Ham Towers kya Hamis Kiggundu kisangibwa Makerere kitunudde ku mulyango oguyingira mu yunivasite e Makerere.