Bawadde eky’okulabirako nti ebitundu bingi ebibiina tebyasindikayo babikiikirira kyokka akakiiko kaagenda mu maaso ne kakola omulimu gw’okulondesa ng abwe karagirwa.
Munnamateeka Mahat Somane alaze kkooti kkopi ya ffoomu emu ku zebeemulugunyizzaako n’ategeeza nti kizibu nnyo okukyusa ffoomu kwe bagattidde obululu ezo ezakakiiko zijjira mu PDF era KimsKIT (akuuma kebalonderako) keekagikyusa butereevu kyokka abaawadde obujulizi zebaleese ziraga nti ziri mu JPG eyo pulogulamu tebagikozesa.
Okulambulula ku muwendo gw’obululu obwayonooneka oba obutaakubibwa agambye bwonna baabugatta era bwe bakung’aanyizza babuteeka mu bbaasa ne babuzza mu bbookisi.
Wano baabadde baanukula ebibuuzo ebyabuuziddwa Abalamuzi ba kkooti ensukkulumu abakulemberwa Ssabalamuzi Martha Koome.
Ekimu ku bibuuzo ebyabuuziddwa, waabaddewo ebigambibwa nti waliwo enjawulo ya bululu 3000 obwasukka ku bwa gavana ne memba wa palamenti, otubuulidde nti bubeera bululu obw’ensobi lambika engeri gye bugabanyizibwa mu konsitityuwensi ez’enjawulo.
Mahat yayanukudde nti ekyabadde kitawaanya bye bibalo n’abamu okulowooza nti basobola okukyusa ebikoleddwa tekinologiya w’akakiiko kyokka ekyo tekisoboka.
Omulamuzi yabuuzizza: wagambye nti waliwo abaweebwa obululu bwonna mukaaga naye ng’oli asalawo kulondako ka pulezidenti kokka.
Mahat yayanukudde nti tewali muntu akkirizibwa kuweebwa kalulu n’atambula nako okufuluma ekifo awalonderwa era bwe kibeerawo bamukwatirawo n’avunaanibwa kubanga etteeka lirambika bulungi nti gubeera musango.
Waliwo resolution yonna eraga nti Chebukati yalondebwa okukulira akalulu ka pulezidenti (National Returning Officer).
Munnamateeka George Murugu Muthui yategeezezza kkooti nti etteeka likirambika bulungi, okubeera nga waliwo ebyafulumizibwa mu kyapa kya gavumenti byali biggumiza ekiragirwa ssemateeka wabula si kutondawo kifo kipya ng’abamuvunaana bwe bagamba.