BYA KHASIFAH NAAVA
Nga bakulembeddwamu nanyini kizimbe Hajji Badru Magoba agamba nti taxi zino zatndika mpola mpola okutikira mu maaso g’ekizimbe mu kiseera webazimbira nga paaka enkadde nebabagumikirizza nga bamanyi paaka bwenaggwa bajja kuvaayo naye balemerawo .
Hajji Magoba mu kiseera kino ekizimbe kye kyetwoloddwa takisi nga abasuubuzi abaali babagulako tebakyalina webapaakinga mmotoka zaabwe. Awantu wonna takisi zajjulawo kyokka ate bwe wayita akaseera nga KCCA ejja ebasoloozaako omusolo.
Agamba baawandikira bekikwatako bonna mu kitongole KCCA amabaluwa na batwalira ne poliisi zonna ezeetolodde ekizimbe kino kkopi z'amabaluwa naye ne balemwa okukola ku nsonga zaabwe.

Hajju Magoba owa Magoba Shopping Mall si musanyufu
“Aba KCCA batuuka ne bateekawo obupande nga kuliko obuguwa nga bulaga nti ekifo kya taxi kyokka nga bwetwali tuzimba ebizimbe paakingi twatekawo za bakasitooma baffe era twayita abaakakiiko ne babuggyawo nga abasubuuzi batandise okwekalakaasa nti tebakyakolerako ddala olwa takisi okubasimba mu maaso," Hajji Magoba bwe yategeezezza.
Agamba nti abattakisi tebakoma kwekyo wabula bafuka omusulo mu bucupa ne bagusuula mu maaso g'abasubuuzi mmotooka endala bwe zirinnya mu bucupa omusulo ne gwabika ne gutandika okuwunyira ekifo kyonna.
Magoba agamba nti baagala bekikwatako batuyambe baggye emmotoka za takisi zino bazitwale mu paaka gye ziba zitikkira, olwensonga abasubuuzi bakeera okuva ewaabwe nga bazze kukola naye takisi ziremesa bakasitoma baabwe ab’emmotoka okufuna paakingi bagule so nga n'abeebigere webandiyise pikipiki zisimbawo kasitoma n'asoberwa!