Lumumba atabukidde abazadde abatafa ku baana baabwe

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli mu offiisi ya Katikkiro wa Uganda, Justine Kasule Lumumba akubirizza abazadde, bannabyabufuzi ne bannaddiini okwenyigira mu lutalo lw'okulwanyisa ebikolwa by'okufumbiza abaana abato.

Minisita Kasule Lumumba ng'ayogera.
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision
#Lumumba #abazadde #abatafa #baana

Bya Ponsiano Nsimbi

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli mu offiisi ya Katikkiro wa Uganda, Justine Kasule Lumumba akubirizza abazadde, bannabyabufuzi ne bannaddiini okwenyigira mu lutalo lw'okulwanyisa ebikolwa by'okufumbiza abaana abato.

Lumumba bweyabadde ayogerako eri abazadde n'abayizi e Jinja yalaze okutya olw'abazadde abasudde obuvunaanyizibwa bwabwe eri abaana baabwe ne bakulembeza emirimu gyebakola, abaana ne babalekera abakozi ng'ate abamu naddala mu byalo abaana abawala babatunulira nga kya bugagga era oluba okusuna amabeere nga banoonya abasajja ababawaamu ebintu ne ssente.

Wano wasabidde abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo n'addala bannaddiini ne bannabyabufuzi okukwatizaako gavumenti mu kulwanyisa ebikolwa bino.

Yasabye abazadde okukomya okulagajjalira abaana baabwe nga beefuula abakola ennyo ne basalawo okubalekera abakozi ne ttivvi okubagunjula ekibaviiriddeko okuyiga emize. 

Kasule agamba nti kikyamu abazadde okulowooza nti buli kintu gavumenti y'ekivunaanyizibwako ne batuuka n'okiginenya olw'abaana baabwe abafuna embuto, bano yabajjukiza nti gavumenti evunaanyizibwa okusomesa abaana mu nkola eya bonna basome,okuzimba enguudo n'amalwaliro wabula abazadde bavunaanyizibwa ku ky'okwagazisa abaana baabwe okusoma, okubabuulira okusobola okweyimirizaawo n'okulabirira ffamire zaabwe.

Yayongeddeko nti gavumenti etaddewo enkola ez'okuyamba abantu okwekulaakulanya okuli Emyooga ne Parish Development Model zebasaanye okwettanira era n'abakubiriza okulima emmere emala gyebasobola okuliisa abantu baabwe n'okutundako.