Bya Eria Luyimbazi
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kirabudde abayizi abali mu kutuula ebigezo bya S4 okwewala okwenyigira mu kukoppa n'emivuyo emirala kuba anaakwatibwa waakukangavvulwa.
Omwogezi w'ekitongole kino, Jennifer Kalule Musamba yagambye nti ebibuuzo by'omwaka 2022 bikoleddwa wansi w'etteeka erya UNEB Act eryayisibwa mu 2021 nga buli anneenyigira mu mivuyo gyonna mu kukola ebigezo waakuvunaanibwa n’okuweebwa ekibonerezo ekikakali omuli okusibwa wakati w’emyaka 5 – 10 oba okutanzibwa wakati w’obukadde 20 ne 40.
"Twagala okulabula abantu bonna nga n’abayizi mwobatwalidde obutageza kwenyigira mu mivuyo gyonna mu biseera by'ebigezo kuba guno gwe mulundi ogusoose ebigezo bino okukolebwa wansi w'etteeka lino’’.
Yagambye nti okusobola okukuuma ebigezo, UNEB yakwataganye n'ebitongole byebyokwerinda omuli abaserikale 1,595, abalondoola ebifo we bakolera ebigezo 1,611 n'abakuumi b'ebigezo 22,214.
Ku bayizi abali mu bitundu by’e Kassanda ne Mubende abali mu muggalo olwa Ebola, UNEB yakwataganye n'e minisitule y'ebyobulamu n’ebyokwerinda okukuuma ebibuuzo n'okulondoola ebifo we bakolera ebigezo bino nga baalagiddwa okusooka okweyanjula ku poliisi bababuulire eky'okukola.
Yagambye nti mu bigezo by'omwaka guno ebya S4 bituuliddwa abayizi 349,445 abewandiisa okuva mu bifo 3,703 okwetooloola eggwanga. Waliwo n’abayizi abaliko obulimu 519 abagenda okuyisibwa mu ngeri ey'enjawulo nga bakola ebigezo nga abalina embuto, abakazaala n’abalwadde.
Yagasseeko nti ku lunaku olwasoose ebigezo byatuuse bulungi ku masomera era ng’abayizi baatandise n'ekigezo ky'okubala.