BANNANGE embudaabuda oba oyinza okugiyita ‘care’ bboosi gye yandaze ku wiikendi yandese nnyenjebuse. Omanyi bwe tubaddenga ku whatsApp ng’ayagala tusisinkanemu ebweru wa ofiisi. Nange bambi saayagadde kumukandaaliriza
kisusse era olwambuuzizza oba naamuwaayo akadde ku wiikendi eno gye tuvuddemu nange nnayanguye mangu okumuddamu nti wendi.
Yankubidde ku Lwomukaaga nga zigenda mu ssaawa 7.30 ez’emisana n’ambuuza w’ayinza okunsanga. Mu kiseera ekyo nabadde mu bitundu by’e Lugogo nga hhenda mu supermarket.
Olwo naye yabadde mu Nakawa kwe kunsaba mmulindeko ebintu tubigule ffembi. Eddakiika tezaaweze na 8 nga yantuuseeko dda ne twewa ‘hug’. Twesozze supermarket n’abaka akagaali mw’oteeka ebintu by’ogula nga bw’osindika. Yahhambye mmukulemberemu nga bwe nnonda ebintu bye njagala. Nga tutuuse okusasula yansabye nkimulekere oluvannyuma ne tufuluma n’akagaali yogaayoga ku mmotoka yange. Nga tumaze okussaamu ebintu, bboosi namusabye tutuuleko munda mu mmotoka nsooke nywe ku ‘yoghurt’ kuba nabadde ndakasidde. Mu kunywa ‘yoghurt’,
waabaddewo akuba essimu kyokka mu ngeri y’okwagala okugikwata ate ‘yoghurt’ yayiise ku bbulawuzi yange. Bboosi yayanguye okuggyayo akatambaala ansiimuule. Oluusi ku wiikendi nze nneeyambalira bimpa mirembe omuli n’obutaleega nga ne ku luno bwe kyabadde.
Bboosi mu kugezaako okusiimuula ‘yoghurt’, kyenkana yatandikidde awali ebbeere.
Jjukira nti ebbeere bwe litabeera mu kaleega, obeera oliwulirira ddala era naye we yeesibye nga tavaawo. Nagenze okuwulira nga ntandise okusabbalala era nneekanze ndi mu kusiiyiriza.
Bboosi naye eyabadde atandise okucankalana ku fulaayi y’empale, yassizza ekikkowe nga bw’agamba nti “You should be great in bed (nti olabika oli muyitirivu mu buliri)”. Bino byonna tebyawezezza ddakiika ssatu ne tweyongerayo okufuna ekyemisana. Muli nagenze nkuba obufaananyi nti ddala ssinga tetwabadde mu bantu, we bankwatidde ku
bbeere mulowooza nabadde nkyalimu akasiba