Ettendekero ly'abasawo e Nsambya beetegekera kujaguza myaka 1000
Oct 22, 2022
Mu 1903, Omubiikira enzaalwa y’eggwanga lya Ireland, Mother Mary Kevin Kearney amanyiddwa ennyo nga Maama Keevina ow’e Nsambya, y’ajja mu Uganda. Olw’okulumirirwa abakyala abaali bafiira mu ssanya, Omubiikira ono y’atandikawo eddwaliro ly’e. Nsambya, kyokka nga y’alitandikira mu muti. Oluvannyuma yatandikawo ettendekero ly’abasawo, St. Francis Nsambya Hospital Training School, okusobola okufuna abasawo ab’okukolera mu ddwaliro lino.

Bukedde Omusunsuzi
Omusunsuzi @NewVision

Nsambya 2
Kati emyaka gyiweze 100 bukya essomero lino litandikibwawo. Omukolo gw’ekijaguzo gwakubeerawo ku Lwokuna lwa wiiki ejja (October 27, 2022).
Wabula ng’ogumu kumikolo egyinatuusa abantu ku ntikko y’ekijaguzo, abaddukanya ettendekero lino baategese olusiisira lw’eby’obulamu gaggadde, mwebaakeberedde n’okujjanjaba ebikumi n’ebikumi by’abalwadde.
Nsambya 9
Akulira ettendekero lino, Rev. Sr. Josephine Namatovu y’ategeezezza nti kyabadde kigwanidde okuwa abalwadde obujjanjabi obw’obweeere kubanga ne Maama Kevina yali tafa ku bya ssente wabula okuyamba abantu okuba n’obulamu obulungi.
Nsambya 13
No Comment