Abakadde mu Nakawa bajaguzza olunaku lwabwe
Nov 04, 2022
ABAKADDE mu gombolola ye Nakawa bakuzizza olunaku lwabwe nebakukkulumira abakulembeze nga bagamba nti tebafiiridwako kyokka nga bakola kinene nnyo mu kukulaakulanya eggwanga naddala nga bayita mu kuliwabula.Bano okwemulugunya kuno bakukoledde ku divizoni e Nakawa bwebbadde betabye ku mukolo gw'okujaguza olunaku lw'abakadde .
By Huzaima Kaweesa
Journalist @New Vision
ABAKADDE mu gombolola ye Nakawa bakuzizza olunaku lwabwe nebakukkulumira abakulembeze nga bagamba nti tebafiiridwako kyokka nga bakola kinene nnyo mu kukulaakulanya eggwanga naddala nga bayita mu kuliwabula.
Bano okwemulugunya kuno bakukoledde ku divizoni e Nakawa bwebbadde betabye ku mukolo gw'okujaguza olunaku lw'abakadde . Tatti Nantume omutuuze we Kirombe B e Luzira nga mukadde ate nga aliko obulemu bw'obuzibe bw'amaaso ategezezza nga bwebayita mu bulamu obw'okusomoozebwa nga balinga abeerabirwa edda.Abakadde nga bajaguza olunaku lwabwe e Nakawa
Ategezezza nga oluusi embeera lwekuzitoowerera nga oluusi abeera abula kubulwa kyakulya. Alaze obwenyamivu nga oluusi bawulira buwulizi nti gavumenti eriko abakadde b'eduukiridde kyokka eky'ennaku bo babalek bali ky'agamba nti si kya bwenkana. Nantume akukkulumidde nnyo bannabyabufuzi abalondebwa kyokka nebatadda mun bantu nga nebwewabeerawo pulojekiti za gavumenti ez'abakadde bakoma ku kuziwulirav mu bitundu birala nga bo tezibatuukako. Asabye abakulembeze bonna naddala abali mu gavumenti okufubanga okubajukiranga kubanga nabo bannayuganda abalina okufuna obuweereza nga banansi abalala bonna. Sipiika we Nakawa Godfrey Luyombya asabye abali mu bukulembeze bonna okuvangayo okuduukirira abakadde bano kubanga emyaka gyebalimu gibeera gya kuyambako.Kn 9
Luyombya asabye obuyinza obumu okubzza ku magombolola kiyambengako okutuusanga amangu empeereza ku bantu. Meeya we Nakawa Paul Mugambe yavumiridde nnyo abantu abatulugunya abakadde n'abasaba okwekuba mu mitima kubanga bano b'ebazdde b'eggwanga. Omukolo gwetabiddwako ne minisita wa guno na guli era omumyuka wa ssabaminisita owokubiri Hon. Rukia Nakadaama nga ono yasuubizza abakadde nga embeera yaabwe bw'ejja okwongera okulongosebwa
Related Articles
No Comment