Abavubuka 3 bavunaaniddwa gwakusangibwa na masasi n'ebyambalo by'amagye ga UPDF

OMUYIMBI omuto bamusindise mu kkomera lwakusangibwa n'amasasi 16 agabamukwata mmundu aba UPDF.

Okoto ne Akena mu kaduukulu ka kkooti y'amagye e Makindye
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Sam Okot nga yeeyita DIZZO ate oluusi ne yeeyita ALLIANCE nga muyimbi omuto era omutuuze mu Agago West e Bweyale mu Kiryandongo disitulikiti y'asimbiddwa mu kkooti y’amagye n'avunaanibwa.

Okot yavunaaniddwa wamu ne Francis Akena eyeeyita WADPAULO 20 omugoba wa Bodaboda e Bweyale ku kyalo Agago West.

Oludda oluwaabi lugamba nti bano omusago baaguzza nga August 26,2022  mu bbaala ya Platinum Guest House and Bar mu ka tawuni e Bweyale bwe baasangibwa nga balina amasasi 16 agagambibwa okuba aga UPDF.

Omusango gwabasomeddwa ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Robert Mugabe era bombi baagukkirizza.

Baasindikiddwa mu kkomera okutuusa nga November 15, oludda oluwaabi luleete ebikwata mu musango n’engeri gye baaguzzaamu.

Musana mu kkooti y'amagye e Makindye

Musana mu kkooti y'amagye e Makindye

Mu ngeri y’emu kkooti  yavunaanye omuvubuka Ivan Musana nga naye yasangibwa n’ebyambalo by’amagye g’abajaasi abakuuma Pulezidenti aba SFC.

Musana (20), mutuuze w’e Mbuya 11 mu Nakawa yasangibwa ne yunifoomu ya SFC eya madowadowa ssaako n'enkoofiira ng’abirina mu bukyamu.

Ono omusango yagukkirizza nti yaguzza nga October 25, 2022 bwe yasangibwa mu bbalakisi e Mbuya ng'ali n'ebyambalo bino.

Naye omusango yagukkirizza era akomawo mu kkooti nga November 15, awulire eby'oludda oluwabi mu bufunze.