Okukwatibwa kwa Sheikh Mwanje kuggyeyo ebyama ku mbiranye ye ne Amir Kamoga

Dec 10, 2022

OKUKWATIBWA kw’amyuka akulira Abatabbuliiki, Shiekh Yahaya Mwanje kuggyeyo ebyama Abasiraamu b’e Nakasero bye baludde nga boogera mu bwama!.Ebyama bino lwe lutalo olw’ekimpoowooze wakati wa Amir Sheikh Muhammad Yunus Kamoga n’omumyuka we Sheikh Mwanje nga lulimu ebyenkwata n’ensaasaanya ya ssente naddala ku bya Pulojekiti ya Ummah House.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

OKUKWATIBWA kw’amyuka akulira Abatabbuliiki, Shiekh Yahaya Mwanje kuggyeyo ebyama Abasiraamu b’e Nakasero bye baludde nga boogera mu bwama!.
Ebyama bino lwe lutalo olw’ekimpoowooze wakati wa Amir Sheikh Muhammad Yunus Kamoga n’omumyuka we Sheikh Mwanje nga lulimu ebyenkwata n’ensaasaanya ya ssente naddala ku bya Pulojekiti ya Ummah House.
Ekirala ekitabula Kamoga ne Mwanje y’enkolagana y’Abatabbuliiki ku ludda olumu ne Mufti Mubajje e Kampalamukadde ne ku ludda olulala n’enkolagana yaabwe ne Kibuli.
Ensonda mu Batabbuliiki e Nakasero zaategeezezza nti Mwanje bwe baamuyodde mu Drone, abamu ku bamanyi ebigenda mu maaso baategedde nti okukwatibwa kwe kuyinza okuba nga kulina akakwate ku byobufuzi eby’omu muzikiti era n’ebigambo Sheikh Mwanje bye yayogedde mu lukung’aana lwa bannamawulire nga yaakayimbulwa byalese Abatabbuliiki nga buli omu atunula ku munne.
Bwe bantwala eyo gye mbadde bwe baamanya obuzibu we buva ne balaba nga tebuliiwo ne bang’amba nti genda. Singa bulijjo kye bakola kyandituyambye n’okuyamba eggwanga okutereera”. Bye bimu ku bigambo Sheikh Yahaya Mwanje bye yayogedde ku muzikiti e Nakasero ng’ayimbuddwa.
Omwogezi w’amagye Brig. Felix Kulaigye yategeezezza nga Mwanje akwatiddwa nti ensonga ezaamukwasa zaali za byakwerinda wadde teyalambulula.
Kyokka ebigambo bya Mwanje biraga nti abaamukwata baakizudde nga byalimu ensonga endala ezitali za byakwerinda nga bwe baasooka okulowooza era kyava yayimbuddwa nga balaba talina musango.
Abamu ku Basiraamu ku muzikiti kwe baavudde okuteebereza nti osanga obutakkaanya obuli mu bakulembeze bwandiba nga bulina akakwate ku biriwo.
Omuzikiti gw’e Nakasero kye kitebe ky’Abatabbuliiki aba Jamatil Dawatil Salafiyah abakulemberwa Amir Ummah Sheikh Yunus Kamoga.
Ensonda mu muzikiti zaategeezezza nti obutakkaanya obwatandikira mu kukyusa Sheikh Yahaya Mwanje eyali akulira Zakah n’asikizibwa Muhammad Segawa kyaleka bangi nga tebamatidde.
Kigambibwa nti Kamoga bwe yali akyusa Mwanje yategeeza nti ayagadde bafune omuvubuka atuukana n’enkyukakyuka mu bya tekinologiya asobola okukozesa obulungi kompyuta okusinga ku Mwanje.
Oluvannyuma Mwanje yalangirirwa nga bw’aweereddwa ekifo ekiggya eky’omumyuka wa Amir. Kyokka Abatabbuliiki abamu tebaakisanyukira nga bagamba nti ekifo ekimuweereddwa tekiri mu konsitityusoni ebafuga era baalabira ddala ng’afunye ebyoya by’enswa.
Mwanje eyalina ofiisi gy’addukanya mu kiseera kino talina ofiisi wadde ng’ekifo kyalimu kirabika ng’ekinene. Emirundi mingi bwabeera talina b’asomesa mu muzikiti atera okutuula ku katebe okumpi n’omulyango gw’omuzikiti. Mu kifo kino kyennyini abeebyokwerinda we baamusanga ne bamuyingiza Drone lwe yakwatibwa.
Waliwo Omusiraamu eyasabye amannya ge gasirikirwe eyagambye nti Sheikh Mwanje obutabeera na ofiisi kibaluma nnyo kuba abakulembeze abalala abalabika ng’ebifo byabwe bya wansi balina ebifo we baddukanyiza emirimu.
Kigambibwa nti okuva Mwanje lwe yava mu kkomera n’adda mu kifo kye ekya Amir Ummah alina ebintu bingi byazze akola ku lulwe ng’omuntu ebitasanyusa bakulembeze.
BYE BEEMULUGUNYAKO
Okugeza mu April w’omwaka guno Pulezidenti Museveni lwe yasisinkana abakulembeze b’Obusiraamu okwali; Mufti Shaban Mubajje, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa, Sheikh Obeda Kamulegeya ne Sheikh Kamoga.
Abakulembeze mu muzikiti baavumirira Kamoga olw’okwetumiikiriza n’asisinkana Pulezidenti n’atuuka n’okussa ku kiwandiiko omukono ku lwabwe nga tamaze kubategeezaako. Embeera eno kigambibwa nti yayisa bubi Kamoga n’atuuka n’okulowooza nti waliwo abatandise okumulwanyisa.
Omu ku bakulembeze yagambye nti baasalawo batunuulire Kamoga kuba alabika nga yasalawo kudda mu byabufuzi.
“Twakitegeera nti azannya byabufuzi bye era emirundi egisinga byayogera biba bibye ng’omuntu. Mu kiseera kino tuwulirira nnyo mu Sheikh Mwanje kuba twamuzuula nga talina bibye bye yeenoonyeza” Sheikh omu bwe yagambye.
Yagambye nti baamukkiriza okukola ebyobufuzi, kyokka baamugaana okwogera ku bikwatagana ne mbuulira nga tabategeezezza.
OKULONDA KWAYOGEDDE
OKUSAJJULA EMBEERA
Ensonda zaategeezezza nti okusooka Abatabuliiki baali bakkiriziganyizza bonna beetabe mu kulonda okwakaggwa okwategekeddwa aba UMSC.
Kyokka oluvannyuma abakulembeze baakuvaamu mpola olw’enteekateeka gye baali balaba nga terina ngeri gy’egenda kugatta Basiraamu nga bwe baali basuubira.
Ekimu ku kyasinga okutabula Abatabbuliiki kwe kuba ng’empapula z’okuwandiisa emizikiti kwaliko akatundu; Alaina okujjuzibwa Imaam akakwata ku bwannannyini bw’ettaka okuli omuzikiti. Baali balina okulaga alina ekyapa ky’omuzikiti bwe kiba nga kikyali mu mikono gya muntu.
UMMAH HOUSE
Waliwo Abasiraamu abeemulugunyizza ku kifo abakulembeze kye bagamba kye baagula e Katwe awagenda okuzimbibwa Ummah House. Obuzibu babuteeka ku muwendo gwa ssente obukadde 800 ezigambibwa nti zaagula ekifo. Omuwendo guno abamu bagulaba ng’omutono okusinziira ku bbeeyi ya poloti emanyiddwa mu kitundu.
Kuno bwoteekako eky’okuba nga poloti tebagibalambuzangako ne gujabagir

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});