Amawulire

E Kanyanya basiibudde Omusumba w'Obusumba ku Ssekukkulu

ABAKRISTAAYO okuva mu Busumba bw'e Kanyanya beeyiye mu bungi mu kusaba kwa Ssekukkulu ku kkanisa y'Obusumba eya St. John e Kanyanya.

Rev. Lubega ne mukyala we nga babalaga ekimu ku birabo ebyabaweereddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Paul Galiwango

ABAKRISTAAYO okuva mu Busumba bw'e Kanyanya beeyiye mu bungi mu kusaba kwa Ssekukkulu ku kkanisa y'Obusumba eya St. John e Kanyanya.

Mu kusaba kuno mwe beebalizza wamu n'okusiibula abadde Omusumba w'Obusumba buno, Rev. Fredrick Lubega eyakyusiddwa n'atwalibwa mu Busumba bw'e Katwe Matrys.

Okusaba kuno kwakulembeddwaamu Rev. Fredrick Lubega eyakalaatidde Abakristaayo bulijjo obutatya wakati mu kusoomozebwa okw'enjawulo kwe bayitamu.

Rev. Lubega Ng' Ali Ne Ffamire Ye Nga Beebaza Abakristaayo B'e Kanyanya Olw'okubaagala Wamu N'okubawa Ebirabo.

Rev. Lubega Ng' Ali Ne Ffamire Ye Nga Beebaza Abakristaayo B'e Kanyanya Olw'okubaagala Wamu N'okubawa Ebirabo.

Okusaba kuno  kwetabiddwaako eyali omukungaanya ow'oku ntikko ow'olupapula lwa Bukedde, Geoffrey Kulubya era nga ye mukubiriza w'Abakrisitaayo mu Busabadinkoni bw'e Gayaza wamu n'abakulembeze ku munisipaali ye Kawempe.

Rev. Lubega mu bubaka bwe eri abakkiriza abakuutidde bulijjo okunywereranga ku Katonda wakati mu kusoomoozebwa okw'enjawulo n'anokolayo ekiwamba bantu olw'ebyobufuzi, ensonga z'ettaka, obutabanguko maka n'embeera y'ebyenfuna eyeeyongedde okukaluba n'ategeeza nti Yesu azaaliddwa abakkiriza era balina obutatya kuba ye wali era nga ye bannyini buyinza era nga tewali kimulema. 

Yagaseeko nti omuntu bw'akolera mu kutya akakkana ayonoonye oba okulemererwa, n'abasaba obutatya nsonga yonna wabula okunywerera ku Katonda mu kusoomoozebwa n'ategeeza nti okusomoozebwa kuyamba okutendeka omuntu. 

Rev. Lubega Ne Mukyala We Nga Bakwasibwa Ekimu Ku Birabo Ebyabaweereddwa.

Rev. Lubega Ne Mukyala We Nga Bakwasibwa Ekimu Ku Birabo Ebyabaweereddwa.

Lubega yennyamidde olw'abantu abakozesa erinnya lya Katonda  okuggya ku balala ebyabwe. Yasabye abantu okwewala engambo, obuluvu nga bayaayaanira ebitali byabwe n'abasaba nga okwenenya badde eri Katonda balokoke lwe banaasobola okutuuka mu ggulu. 

Rosset Kavuma omuwanika w'ekkanisa yategeezezza nti ng' ek anisa basobodde okusonda ekirabo kya bukadde buna kye bakwasizza Omusumba Lubega olw'okumwebaza olw'obuweereza obulungi. 

Geoffrey Kulubya Eyali Omukungaanya W'olupapula Lwa Bukedde Nga Ye Mukubiriza W'obusabadinkoni Bwe Gayaza Obutwala Obusumba Bw'e Kanyanya.

Geoffrey Kulubya Eyali Omukungaanya W'olupapula Lwa Bukedde Nga Ye Mukubiriza W'obusabadinkoni Bwe Gayaza Obutwala Obusumba Bw'e Kanyanya.

Lubega yeebazizza Abakrisitaayo olw'okubaagala n'okubalabirira ebbanga ery'emyaka mukaaga ly'amaze nga  Omusumba w'Obusumba bw'e Kanyanya n'abasaba okugenda mu maaso n'okuzimba ekkanisa era n'okwaniriza Omusumba omuggya eyabaweereddwa. 

Engineer Henry Buule omukubiriza w'Abakrisitaayo ow'ekkanisa eno  yategeezezza nti ekiseera Omusumba Lubega ky'amaze e Kanyanya akoze ky'amaanyi okulaba ng'e kkanisa efuna ettaka ly'ennyumba y'Obusumba ate n'atakoma kw'ekyo  n'ayamba okukuza ekkanisa okusobola okuba ng'ekkirizibwa okugatta abagole.

 

 

 

Tags:
Kanyanya
basiibudde
omusumba
Ssekukkulu