Bakungubagidde Munna NRM Vincent Kimbugwe eyattiddwa

Jan 10, 2023

Yaziikiddwa ku kyalo Lukakka A mu ggombolola y'e Mitete mu disitulikiti y'e Ssembabule.

NewVision Reporter
@NewVision

Abantu ab'enjawulo bakungubagidde abadde munna NRM, Vincent Kimbugwe eyattibwa ku Lwokuna lwa Ssabbiiti ewedde abantu abatannategeerekeka omulambo gwe ne gusuulibwa e Bwaise mu Kampala.

Omubaka akiikirira Lwemiyaga Theodore Sekikubo ng'asiibula omugenzi Kimbugwe.

Omubaka akiikirira Lwemiyaga Theodore Sekikubo ng'asiibula omugenzi Kimbugwe.

Yaziikiddwa ku kyalo Lukakka A mu ggombolola y'e Mitete mu disitulikiti y'e Ssembabule. Kimbugwe yeesimbawo ku bubaka bwa Palamenti emirundi egiwera ng'awangulwa. Mu kalulu ka akawedde aka 2021 yawangulwa omubaka owa NUP Gorret Namugga.

Abakyala nga bagumya Namwandu Jane Kimbugwe (wakati) mu kuziika.

Abakyala nga bagumya Namwandu Jane Kimbugwe (wakati) mu kuziika.

Gorret Namugga asabye abantu okukomya okuwoolera eggwanga beeyise nga abazadde n'alaga obweraliikirivu ku bantu abasaba lipooti ate nga be batugumbula Bannayuganda n'asaba abakulembeze balambike abantu.

Abadde munywanyi w'omugenzi George Mutabaazi ng'awa obubaka obusiibula omugenzi.

Abadde munywanyi w'omugenzi George Mutabaazi ng'awa obubaka obusiibula omugenzi.

Munywanyi w'omugenzi era nga ye yali ssentebe wa disitulikiti y'e Lwengo George Mutabaazi asabye abakuumaddembe okukola ekyetaagisa okulaba nga ffamire efuna obwenkanya nga bwe guli ku mugenzi Kaweesi n'ayogera ku mugenzi ng'abadde omukalabakalaba mu by'obufuzi.

Abamu ku bakungubazi abalala mu kuziika Kimbugwe.

Abamu ku bakungubazi abalala mu kuziika Kimbugwe.

Okuziika kwetabiddwako ba RCC ab’enjawulo mu kampala, Minisita omubeezi ow'ebyamazzi Aisha Sekindi ne minisita omubeezi ow’ebyobulamu Anifa Kawooya ng'ono ayogedde ku mugenzi ng’abadde omuntu ayagaliza abalala era bwe babadde bawabuling’ana mu by'obufuzi.

 

Omugenzi alese abaana 4. Nnamwandu Jane Kimbugwe ategeezezza nti afudde mulokole asonyiye buli muntu n'asaba Katonda abagumye.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});