Poliisi eremesezza ababadde basondera Nakweede ssente

Feb 27, 2023

POLIISI e Kayunga yasiibye egobagana n'ab’ekibiina kya NUP ababadde basonda ssente okuyamba munnakibiina munnaabwe Harriet Nakweede avvuunuke engassi eyamutanzibwa kkooti oluvannyuma lw'okumeggebwa omusango gw'okulonda.

By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision

Kkooti Enkulu e Mukono yalagira Harriet Nakweede aliyirire omubaka Aidah Nantaba obukadde bw'ensimbi 21 oluvannyuma lwa Nantaba okuwangula omusango Nakweede mwe yali amuvunaanira okumubba obululu mu kulonda kwa 2021.

Poliisi ebakubyemu ttiyaggaasi n'amasasi nga nabo bwe bagiddiza amayinja.
Nakweede abadde talinaamu wadde ennusu kwe kuyita mu bawagizi be bamusondere ku ssente okuva ku 500/- buli omu z'alina asobole okusasula Nantaba.

Nakweede abadde n'omubaka Patrick Nsanja owa Ntenjeru South babadde bakyasonda ssente poliisi ng’ekulembeddwa Raymond Odong esonze n'ebalagira okwamuka ekifo.
Bino babadde tebannabimala mu kamwa n'etandika okuwandagaza amasasi n'omukka ogubalagala.

Nakweede ne Nsanja bavumiridde ekikolwa kya poliisi kubanga olukiiko luno lubadde mu mateeka nga balina n'ebbaluwa eyabakkiriza ng’eva ku kitebe kya bambega e Kibuli.

Abantu baabunye emiwabo nga bwe bafeesa n'okwesiiga ennyaanya olw'omukka ogubalagala.

OC Odongo agambye nti olukiiko olwakkiriziddwa lwabadde terulina kuba mu katale.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});