Ekibiina kya Alliance for National Transformation kinenyeza ababaka okuva e Karamoja nti bebavaako obuzibu bwoma obuli mu kitundu kino
Bano bagamba nti abantu be Karamoja bandibadde tebetaaga kuweebwa mabaati kuzimba mayumba senga ebyobugaga byabwe byebalina bibadde bikwatibwa bulungi kulw'abantu b'ekitundu kino.
Alice Alaso omukwanaganya m'emirimu gy'ekibiina kino okwetoloola eggwanga lyona agamba nti ababaka ba Karamoja tebayambye bantu babwe kubabulira kituufu kigenda mu maaso ekirese abantu nga basigadde mu butamanya
Ye akulira Alliance for National Transformation Gen. Gregory Mugisha Muntu asomoozeza gavumenti okukangavula ba minisita bona abenyigira ku Kuba amabaati nagamba nti bano tebakomye ku kiswaza ggwanga naye bakotogedde n'omuntu omunaku abeera e Karamoja