Bya Ssenabulya Baagalayina
ABAKULEMBEZE b'akabuga k'e Lukaya mu Kalungu bateekateeka okusengula abatuuze b'omu Lwera babazze mu kitundu ekirala gye bataddemu kutataaganyizibwa mazzi.
Meeya Tamale yeebazizza ofiisi ya Nabbanja ey'ebigwabitalaze okwanukula omulanga gw'abatuuze bano n'abadduukirira n'ekyokulya nti kyokka ekizibu tekiweddewo kuba amazzi gakyabatawaanya nnyo mu buli sizoni y'enkuba.

Obuyambi Obwaweereddwa Ab'e Kamuwunga
Meeya Tamale akkiriziganyizza ne minisita omubeezi ow'amazzi n'obutonde bw'ensi, Aisha Ssekindi ne basaba abantu bano okwawula ebyobufuzi mu nkuulaakulana naddala ku pulojekiti ezibagatta nga tebatunuulira kw'ani agireese nga langi z'ebibiina zibagasa kitono.
Ye omubaka wa Gavumenti e Kalungu, Dr. Paddy Kayondo abasabye babeeremu n'obugumiikiriza okutuusa nga bakoleddwa ekisingawo.

Minisita Omubeezi Ow'amazzi N'obutonde Bw'ensi Aisha Ssekindi N'abakulembeze Abalala Mu Nsisinkano N'abe Kamuwunga Mu Lwera

Rdc Wa Kalungu Dr Paddy Kayondo Ng'asaba Ab'e Kamuwunga Mu Lwera Okuba Abagumiikiriza.
Ate Ssentebe wa LCV, Ahmed Nyombi Mukiibi asabye Gavumenti ewalirize abasima omusenyu mu Lwera okweyambisa ebimotoka byabwe mu kuteekawo emikutu egitwala amazzi mu nnyanja galeme okuddamu okwanjaalira mu batuuze.
Minisita Ssekindi yeeyamye okuwaayo amafuta gonna aganaateekebwa mu bimotoka nga byerula emikutu olw'okutaasa abatuuze ku kizibu ky'amazzi agabagoba mu mayumba mu budde bw'enkuba.
Bakansala Haspher Namubiru ne Irene Mwebe Nanyanzi bagasseeko eddoboozi nti emikutu gyokka gye gyetaagisa okutangira amazzi agajjula mu birombe by'omusenyu ne ganjaalira mu mayumba g'abatuuze.