Kyaddaaki omugole eyabadde abuze ng'ebula ennaku bbiri ayanjule azuuse

KYADDAAKI omugole eyabadde abuze ng'ebula ennaku bbiri aleete omusajja mu maka ga bakadde be Bushirah Najjuuko avuddeyo gy’abadde yeekukumye

Kyaddaaki omugole eyabadde abuze ng'ebula ennaku bbiri ayanjule azuuse
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision
#Amawulire

Kyaddaaki omugole eyabadde abuze ng'ebula ennaku bbiri aleete omusajja mu maka ga bakadde be Bushirah Najjuuko avuddeyo gy’abadde yeekukumye ne yeetwala ku poliisi y’e Nsangi.

Najjuuko eyabadde abuze ng'alippira bbooda ku poliisi e Nsangi.

Najjuuko eyabadde abuze ng'alippira bbooda ku poliisi e Nsangi.

Ono atuukidde mu ofiisi y'akulira okunoonyereza ku buzzi bw'emisango n’akola sitatimenti oluvannyuma n’akwasibwa nnyina Aisha Nalukenge ne balinnya bodaboda n’ebaggyawo.

Bano babadde beebikiridde nga tebaagala bantu kubulaba mu maaso era bagaanyi okubaako kye boogera.

Najjuuko bw'afaanana

Najjuuko bw'afaanana

Patrick Onyango omwogezi was poliisi mu Kampala n'emiriraano ategeezezza ono abategeezezza nti abadde wa mukwano gwe Zainah e Ndejje gy’abadde yeekukumye olw'okumusibako omusajja gw’atayagala era nga kye kyamuwalirizza okuggyako n'essimu ye.Najjuuko ne nnyina nga batuuka ku poliisi e Nsangi.

Najjuuko ne nnyina nga batuuka ku poliisi e Nsangi.