Bannayuganda n’okutuusa leero bakyakukkulumira ebinnya ebiri mu nguudo z’e Kampala, ebibaleetera okukanika ebidduka byabwe buli kiseera, okuleeta obubenje, nga n’abatambuza ebigere bangi ebidduka naddala emmotoka zibasamuliza ebisooto ng’enkuba etonnye.
Ebinnya
Tutunuulidde ezimu ku nguudo abantu ze basinga okwekokkola olw’ebinnya ebizirimu
Ku Sir Apollo Kaggwa ng’oserengeta e Bwaise, ebinnya bigaziye mu luguudo, ng’abamu ku bavuzi b’ebidduka bakiteeka ku bakola enguudo ababigaziya n’ekigendererwa ky’okubiziba, bwe balwawo ng’ebimotoka ebinene bibigaziya, ekivaamu nga byesimira ddala, ne bifuuka akattiro.
Ku luguudo lwa Portbell oludda e Luzira nayo ssi birungi, naddala okutunuuligana n’akatale k’e Bugoloobi, nga wano okuyitawo n’emmotoka olina okusiitaana, ate enkuba bw’etonnya ne gujabagira, olw’akalippagano k’ebidduka akabeerawo ng’ebinnya byanjadde amazzi.
Ebinnya
Twatuuseeko n’e Nansana ku ludda e Ganda, nga luno lulaga nti luludde okukolebwa, kubanga tekuli wadde emyala, nga kkoolansi yeeryebula dda ku luguudo, kw’oteeka n’ebinnya ebirimu ng’ate oluguudo lufunda, ekiviirako abalukozesa okulwetamwa.
Ate ku 4th Street mu Industrial area, ebinnya bigaziye, olwo abavuzi ne babityita ebbali naddala aba ppiki, nga waliwo n’ab’emmotoka abawaliriza, ekiteeka abatambuza ebigere mu bulabe, ng’emmotoka zijula kubayita ku bigere.
Enguudo endala ezirimu ebinnya gye twatuuse mulimu e Katwe ku ludda e Kibuye, ku e Kawaala ku ludda e Hoima, n’endala nnyingi.
Ebinnya
Wiiki ewedde, bannayuganda baakozesa omutimbagano gwa Twitter okulaga obutali bumativu ku binnya ebisusse mu nguudo, ekyaleetera pulezidenti Museveni okulagira KCCA eweebwe obuwumbi 6 mu bwangu bazibe ebinnya, kyokka waliwo ebiwulirwa nti obuwumbi 20 ze baasooka okuweebwa mu mbalirira y’omwaka okuwedde okukola enguudo, tebannaba kulaga nsaasaanya yaazo, ekiremesezza ezaabasuubizibwa okubaweebwa.