Amawulire

Eby’okutulugunya ababaka ba Palamenti tebinnaggwa

EBY’ABABAKA ba Palamenti abaakwatiddwa obubi bikyalanda, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basabye poliisi ebalage ebibonerezo bye yawadde abaserikale baayo abaasiiwuuse empisa.Kiddiridde poliisi okukwata ababaka abakazi ab’oludda oluvuganya 11 ku Lwokuna bwe baabadde batambula okuva ku Palamenti nga bagenda ku kitebe kya minisitule y’ensonga ez’omunda okutwalayo ekiwandiiko ekiwakanya poliisi okuyimirizanga enkuhhaana zaabwe mu disitulikiti gye bava.

Sipiika Anita Among (wakati) n’ababaka ba Palamenti abaabadde baggaliddwa ku CPS mu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

EBY’ABABAKA ba Palamenti abaakwatiddwa obubi bikyalanda, abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu basabye poliisi ebalage ebibonerezo bye yawadde abaserikale baayo abaasiiwuuse empisa.
Kiddiridde poliisi okukwata ababaka abakazi ab’oludda oluvuganya 11 ku Lwokuna bwe baabadde batambula okuva ku Palamenti nga bagenda ku kitebe kya minisitule y’ensonga ez’omunda okutwalayo ekiwandiiko ekiwakanya poliisi okuyimirizanga enkuhhaana zaabwe mu disitulikiti gye bava.
Ababaka abakazi okwabadde; Joyce Bagala (Mityana), Joan Namutaawe (Masaka), Juliet Kakande (Masaka City), Betty Ethel Naluyima (Wakiso), Manjeri Kyebakutika (Jinja City), Asinansi Nyakato (Hoima City), Florence Kabugho (Kasese), Stella Isodo Apolot (Ngora), Helen Nakimuli (Kalangala), Hanifah Nabukeera (Mukono) ne Joan Acom Alobo (Soroti City).
Waabaddewo akanyoolagano nga poliisi eyoola ababaka abaasoose okutuula ku madaala ga Palamenti wakati mu kwekalakaasa. Oluvannyuma baatambudde nga bakutte ebipande era olwafulumye ggeeti nga beeyongerayo ku luguudo lwa Parliamentary Avenue poliisi we yabayooledde ng’abakwata enseenene.
Ehhuumi n’ebikonde byayisihhanye wakati ng’ababaka beerwanako obutakwatibwa. Naye oluvannyuma poliisi yabasinzizza amaanyi n’ebassa ku mmotoka ekika kya ‘drone’ n’ebatwala ku poliisi ya CPS.
Sipiika wa Palamenti Anita Among yasituse n’agenda ku CPS n’aggyayo ababaka bonna n’abateeka mu mmotoka za Palamenti n’abatwala okutuuka ku Palamenti.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owesigyire yagambye nti baakutte ababaka nga babalanga okutaataaganya entambula y’ebidduka.
Omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa yawaliriziddwa okuyimiriza olutuula ku Lwokuna n’ategeeza nti engeri ababaka gye batulugunyiziddwaamu si kya buntu okugenda mu maaso nga bateesa.
“Engeri poliisi gy’ekuttemu ababaka ebadde ng’etwala abatujju. Abamu balina ebiwundu, abalala engoye ziyuziddwa nga byonna bikolebwa ku mulyango gwa Palamenti. Sikakasa nti abaserikale bano bakolera bulungi bwa Gavumenti”, Tayebwa bwe yagambye.
Yalagidde Katikkiro wa Uganda, Robinah Nabbanja annyonnyole Palamenti ku Lwokubiri lwa wiiki ejja ku bikolwa by’ekika kino era alage n’ebibonerezo ebyaweereddwa abaserikale abaatulugunyizza ababaka obwenkanidde awo.
Akulira oludda oluvuganya Mathias Mpuuga yagambye nti singa tewaba kikolebwa omulundi oguddako y’agenda okukulemberamu Bannayuganda okuwakanya ebikolwa by’ekika kino.
AKAKIIKO K’EDDEMBE
LY’OBUNTU KAYISE OCHOLA
Ssentebe w’akakiiko akalwanirira eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commisision, Mariam Wangadya yawandiikidde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Martins Okoth Ochola alabikeko eri akakiiko nga May 4, 2023 abeeko by’atangaaza ku by’okuyimiriza enkiiko eziri mu mateeka. Yagambye nti ebikolwa by’okugaana enkuhhaana eziri mu mateeka n’okutambula okw’emirembe bimenya Ssemateeka naddala ennyingo ya 29(a),(d) ne (e) ne ennyingo ya 221.
Wangadya ayagala okumanya lwaki enkuhhaana ezaategekebwa ababaka nga Joyce Bagala owa Mityana olwali olw’okukuza olunaku lw’abakyala olwa disitulikiti lwayimirizibwa