Ebyewuunyisa mu nsi: Bungereza eremedde omulambo gw’omulangira gwe yawamba mu Ethiopia
May 28, 2023
MU 1862 Empula Tewodros II, owa Ethiopia, yayagala okussaawo enkolagana n’Obwakabaka bwa Bungereza era n’awandiikira Kkwiini Victoria omukuuku gw’ebbaluwa ng’amusaba bakolagane ng’asuubira okunyweza ebyokwerinda by’eggwanga lye mu nkolagana eno.

NewVision Reporter
@NewVision
MU 1862 Empula Tewodros II, owa Ethiopia, yayagala okussaawo enkolagana n’Obwakabaka bwa Bungereza era n’awandiikira Kkwiini Victoria omukuuku gw’ebbaluwa ng’amusaba bakolagane ng’asuubira okunyweza ebyokwerinda by’eggwanga lye mu nkolagana eno.
Kyokka ng’Abaganda bwe baalugera nti, atamanyi mukwano emmese bw’emusaba ekigwo agigalulira muggo, ne Kkwiini Victoria ekyo kyennyini kye yakola - baamusaba mukwano yajja na mmundu!
Yagaana okusaba kwa Empula Tewodros n’amuyungulira eggye lya bajaasi 30,000 okwali n’abantu abalala 3,000 abaalina okunyagulula buli kintu kye basuubira nti, kyamugaso kisobola okukozesebwa mu myuzizamu zaabwe e Bungereza n’eby’ebbeeyi ebirala mu Bwakabaka buno.
Mu April 13, 1968 eggye lya Kkwiini nga liduumirwa Gen. Robert Napier lyagoba e Magdala okwahhanga eggye lya Ethiopia eryali liduumirwa Empula Tewodros II. Mu myezi mitono Abangereza baali bafunzizza basajja ba Tewodros era Empula bwe yalaba nga takyasobola kuwangula balumbaganyi, olw’okutya okuswazibwa yeekuba amasasi ne yetta.
Abajaasi ba Bungereza baalumba embiri za Empula ne babba engule z’abambejja n’abalangira, bayibuli zaabwe ze baasobola okufuna (bayibuli eno erina ebitabo 84 okwawukanako n’eyaabulijjo erimu ebitabo 66), emikuufu, eminagiro gy’abalangira n’abambejja, amasanga g’enjovu n’ebintu ebirala eby’ebbeeyi era eby’omugaso.
Ebintu ebikalu tebyabamala Gen. Napier n’alagira Nnaabakyala wa Empula ne mutabani we Omulangira Dejatch Alemayehu eyali alindindiridde okutuula ku nnamulondo nabo babatwale ng’ekirabo babaweeyo ewa Kkwiini Victoria.
Kyokka Nnaabakyala teyasobola kumalako yafiira ku kyombo bwatyo Omulangira n’afuuka enfuuzi ku myaka 7 gyokka.
Nga bamutuusizza ewa Kkwiini Victoria, yamusiima era n’alagira munnamagye Tristam Charles Sawyer Speedy amukuze era n’okumuyingiza mu magye. Omulangira ono yasomerako mu ttendekero ly’ekijaasi ery’abaana b’abakungu erya Sandhurst Military College.
Omulangira ono ku myaka 18, yafuna obulwadde mu mawuggwe n’afa mu ngeri eyali ey’amangu era Kkwiini n’alagira aziikibwe mu Kkanisa mwe baziika bakabaka ne bakkwiini ba Bungereza eya St. George’s Chapel.
Oluvannyuma lw’emyaka, Ethiopia ezze esaba Bungereza okubaddiza omubiri gw’omulangira ono nti, yawambibwa buwambibwa tewali nsonga lwaki balemera omulambo gwe okubeera nga guli mayiro 5,000 okuva okwabwobwe.
Kyokka buli lwe bajjukiza Bungereza okuwaayo omulambo guno etegeeza nti, okuguggyayo mu Kkanisa gye baamussa, kigenda kutataaganya n’abantu abalala ate ng’ekyo tekigenda kubeera kirungi eri abantu abo.
Kyokka bagamba nti, abakungu okuva mu Ethiopia abaagala okugenda ku ntaana y’omulangira ono tebabalinaako buzibu ba ddembe ekiseera kyonna okusaba okukkirizibwa okutuukako ku ntaana ye era ekyo tebakirinaako buzibu!
Omulangira ono awandiikiddwaako ebitabo ebisoba mu 20, bamuzannyeemu emizannyo ne firimu eziwera nga bagezaako okumanyisa ensi, nti yawambibwa ate n’aziikibwa mu kifo ky’atalinaako kakwate.
Kigambibwa nti, naye yennyini nga tannafa yasaba akkirizibwe okudda ewaabwe ng’alaba abantu balina engeri gye bamusosola olwa langi ye kyokka okusaba kwe tekwawulirizibwa.
No Comment