Amasomero gakkirizza ffiizi ez’ebitundu

Francis Kyasa, akulira essomero lya Midland High School Kawempe agamba nti bbo bataddewo enkola esobobozesa abazadde okusasula ebitundutundu.

Abazadde nga basimbye ennyiriri mu ofiisi ya bbaasa ku ssomero lya Metro Juniour School Kiteme..jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Amasomero #gakkirizza #ffiizi #z’ebitundu

Bya Musasi Waffe

Francis Kyasa, akulira essomero lya Midland High School Kawempe agamba nti bbo bataddewo enkola esobobozesa abazadde okusasula ebitundutundu.

:Ng’abazadde embeera bw’ebanyiga, ne ku ssomero bwe kiri, kubanga tetusobola kuddukanya mirimu egisinga obungi ku ssomero ng’ensimbi teziriiwo.

Mu kiseera kino omwana asasula 1,050,000/- buli lusoma, kyokka bataddewo enkola ng’omuzadde atuukira mu ofiisi ya mukulu wa ssomero ne yennyonnyolako nga bw’ayimiridde mu by’ensimbi, olwo omwana n’atandika okusoma ng’omuzadde bw’aleeta ensimbi mu mpolampola.

Kyokka n’abo abaguza amasomero ebikozesebwa ng’ebijanjaalo n’akawunga, nabo babagumiikirize nga bwe bagumiikiriza abazadde, kubanga nabo tebayinza kuleeta nsimbi omulundi gumu, nga bwe kiri ku bazadde kubanga embeera y’ebyenfuna ssi nnungi.

Luwalira

Luwalira

Peter Kagimu, omukulu w’essomero lya Saviour High School Kiboga; yagambye nti nabo bakimanyi nti embeera y’ebyenfuna ssi nnungi, kyokka balina okutambuza emirimu, kwe kusaba abazadde nti ku 660,000/- ab’ekisulo ze basasula, omuzadde bw’atandikako n’ekitundu kyazo basobola okumugumiikiriza. Ate atalinaako yadde bamuwa omukisa ne boogerako naye ng’essomero, okulaba engeri gy’ayinza okuyambibwa omwana n’asoma, nga bw’anoonya akasente mu banga eritali ddene, kubanga nabo bakeetaaga okuddukanya emirimu gy’essomero

Stephen Luwalira akulira essomero lya Metro Juniour school Kitemu yagambye nti nabo balaba embeera y’ebyenfuna bw’eyimiridde nga baakuyamba abazadde abatasobodde kusasula ffiizi zonna mulundi gumu.

Abazadde abamu bagamba nti okuzza abayizi mu masomero kutuukidde mu kiseera nga tebannasasulwa musaala gwa May naddala ku bakola mu ofiisi era bagenda kulindamu. Baagambye nti ssente z’omusaala we bazifunira nga bamaliriza abadda ku masomero.
Bagamba nti era bw’ogatta n’ebyetaago ebyetaaga ssente empitirivu balaba nga baakuwalirizibwa awamu okusasula ebitundu ku ffiizi.