Agambibwa okuva mu mmotoka n'apacca omuwala empi aleppuka mu kkooti
May 31, 2023
OMUVUBUKA agambibwa okuva mu mmotoka ye n'akuba omuwala empi olw'okuba amugambyeko okubakubamu amataala aleppuka nagwo mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Peter Ssuuna
OMUVUBUKA agambibwa okuva mu mmotoka ye n'akuba omuwala empi olw'okuba amugambyeko okubakubamu amataala aleppuka nagwo mu kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo.
Ayubu Ssennyange 25 ng'avuga ambyulensi y'aweereddwaako obujulizi Maggie Nalweyiso 26 n'amulumiriza okuva mu mmotoka n'amukuba empi awatali nsonga.
Nalweyiso agamba zaali ssaawa 4:00 ogw'ekiro nga bava kulaba mupiira mu December 31, 2022 e Kawaala, mu kiseera nga bakubaganya ebirowoozo ng'omupiira guwedde, baalaba emmotoka ekika kya Noah eyajja ng'emazeeyo amataala kwe kugamba nti ‘‘lwaki otukubamu amataala bw'otyo’’.
Ategeezezza nti amangu ddala omuvubuka ono yava mu mmotoka n'amukuba oluyi nga bw'amugamba nti ‘‘bwe nkwongerako olulala ojja kusibira magombe’’.
Agamba nti yagenda enkeera mu ddwaaliro era yakozesa emitwalo 470,000/- mu bujjanjabi era ne lisiiti aziraze kkooti.
Omulamuzi Adams Byarugaba abuuzizza Ssennyange oba ddala yakuba omuwala amusasule biggwe, ne yeerema.
Omulamuzi yalagidde bagende mu maaso nga bamuwaako obujulizi . Omusango guddamu nga June 28, 2023 .
No Comment