Kkooti eragidde paasita Solomon Male atwalibwe ku DNA ne muganda we Male Mabiriizi

EBY’OKUKEBEZA omusaayi (DNA) byeyongeddemu ebbugumu, kkooti bw’eragiddePasita Solomon Male ne muto we, looya Male Mabiriizi bakeberebwe omusaayi okuzuula oba ddala batabani b’omugenzi Hajji Mohammed Bazinduse Lulibeda Mutumba.   

Male Mabiriizi ne Solom Male
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EBY’OKUKEBEZA omusaayi (DNA) byeyongeddemu ebbugumu, kkooti bw’eragidde
Pasita Solomon Male ne muto we, looya Male Mabiriizi bakeberebwe omusaayi okuzuula oba ddala batabani b’omugenzi Hajji Mohammed Bazinduse Lulibeda Mutumba.
Ekiragiro kino kkooti kye yawadde kizingiramu ne baganda baabwe abalala 17 bonna abagambibwa okuba nga baana ba mugenzi kyokka nga mu kiseera kino balina obutakkaanya ku ngabana y’emmaali.
Kino kiddiridde Pasita Malene baganda be abalala okwegaana Mabiriizi nti si mwana wa kitaabwe ne bagabana eby’obusika ye n’atafuna. Omugenzi Mutumba yali mutuuze w’e Lubaga - Wakaliga, yafa ekirwadde kya Covid 19 nga June 21, 2021 mu ddwaaliro
e Ntebe ku myaka 82.
Mutumba yali mukulu w’essiga lya Kawuma mu kika ky’Ekkobe. Baamwabiza olumbe nga September 11, 2022 ne bagabana emmaali ye mu kiseera Mabiriizi we yabeerera
mu kkomera.
Ekiragiro ekiragira abaana okukeberebwa omusaayi kyayisiddwa Omulamuzi Paul
Matyama owa kkooti e Mukono era gavumenti y’egenda okusasula ssente z’omusaayi ate Omulamuzi wa kkooti e Mengo Joanita Muwanika n’asazaamu  olumbe lw’omugenzi n’engabana y’emmaali.
Emisango gyombi gyaloopebwa Mabiriizi ng’awawaabira baganda be okuli; Pasita Male, Sirim Mabiriizi Mutumba, Sarah Namala, Rehema Nababi, Faisal Mutumba n’abalala.
Emmaali eyali egabiddwa kuliko poloti bbiri e Lubaga - Wakaliga okuli, amaka g’omugenzi amakulu n’okuli emizigo gy’abapangisa, poloti 3 e Nateete okuli amaka
n’amayumba g’abapangisa ne poloti bbiri e Kamwokya nga zonna Mabiriizi teyafunako.
Kkooti ez’enjawulo bbiri ey’e Mengo ne Mukono okubeera nga zaayisizza ebiragiro eby’enjawulo ku mugenzi Mutumba n’emmaali ye gyavudde kuba nti kkooti y’e Mengo
y’etwala Lubaga awali amaka g’omugenzi. Eno Mabiriizi gye yaloopa omusango ogwekuusa ku mmaali y’omugenzi, engeri gy’esoloozebwamu n’okubeera nti baganda
be baamuboola nti si mwana wa kitaabwe nga kino kityoboola eddembe ye ery’okubaako ffamire n’obuwangwa mw’agwa. Omulamuzi Muwanika okusazaamu  olumbe lw’omugenzi n’engabana y’ebyobusika bye, yasoose kusingisa Pasita Male ne banne omusango gw’okunyoomoola obuyinza n’amaanyi ga kkooti  n’okugezaako okugiremesa okukola emirimu gyayo.
Yagambye nti Pasita Male ne banne bonna baali bakimanyi bulungi nti omusango Mabiriizi gwe yaloopa gwekuusa ku byobugagga by’omugenzi kyokka bbo ne bakola omupango ne basalawo okutegeka olumbe mu bwangu ng’omusango gukyali mu kkooti ne bagabana emmaali y’omugenzi yonna n’eggwaawo ng’ekigendererwa Mabirizi abeere nga takyalina kya bugagga ky’alwanira ate ne kkooti ebeere nga tesobola kusalawo ku mmaali eyaggwaawo edda.
Ate mu kkooti e Mukono eyalagide DNA, Mabirizi yagendayo olw’ensonga nti y’etwala
ekyalo Kasana e Ndese ekisangibwa mu Mukono disitulikiti omugenzi gye yaziikibwa.
Yali asabye kkooti amagumba ga kitaawe gaziikulwe babeeko akatundu ke bagagyako kakozesebwe okukebera endagabutonde z’abaana be bonna oba nga ddala y’abazaala wabula eky’okuziikula omufu kkooti yakigaana naye n’egamba abaana be bonna bakeberwe omusaayi.
Obuvumu Pasita Male ne baganda be kwe basinziira okugamba nti Mabiriizi si muganda
waabwe babuggya mu kiraamo kya kitaabwe. Kigambibwa nti omugenzi Mutumba yaleka ekiraamo mwe yayogerera abaana be bonna naye Mabiriizi teyamwogerako.
Mabiriizi yaggulawo omusango mu kkooti enkulu ey’amaka okuwakanya ekiraamo kino
ng’agamba nti si kituufu era omusango gukyagenda mu maaso. Pasita Male bwe
twamutuukiridde okwogera ku nsonga yagambye nti bagenda kujulira okuwakanya ensala zombi kubanga kkooti tesobola kubalagira kugenda kun musaayi ng’omugenzi kennyini ye yagamba nti Mabiriizi si mwana we. Male yagambye nti; “Mabiriizi sserwajja okwota, ayagala kutwesibako abbe ebintu bya kitaffe, taata yamuyamba n’amuggya e Kyaggwe nga nnyina afudde kubanga yali mukwano gwe n’amuleeta awaka n’amukuza ng’omwana we”. Yagambye nti Mabiriizi yaloopako kitaabwe mu kkooti olwa ssente kkampuni ye ze yamuwola era baamutaasa ku lunaku olusembayo nga bamutwala  mu kkomera e Luzira. Mabiriizi agamba nti Male ne baganda be baagala kukozesa butakkaanya bwe yalina ne kitaawe bamugobe mu ffamire
n‘ebintu byonna babitwale ky’atagenda kukkiriza